Amawulire
Ebisanja ssi ye demokulasiya- Museveni
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni akkatirizza nga Uganda bwetetaaga kkomo ku bisanja enkola ya demokulasiya okubukala mu ggwanga. Nga ayogerako nebannamawulire mu maka g’obukulembeze bw’eggwanga e Gulu, pulezidenti Museveni agambye demokulasiya asoboka nga bannayuganda balonda abakulembeze bebaagala. Agamba abamuvuganya abagenda boogera ku kuzzayo […]
teri kweyongeza musaala- Kkooti eri ababaka
KKooti etaputa Ssemateeka esazeewo nti ababaka ba palamenti tebalina buyinza kweyongeza musaala Abalamuzi 5 nga bakulembeddwamu amyuka ssabalamuzi w’eggwanga Stephen Kavuma basazewo nti gavumenti y’erina okuleeta ekiteeso ky’okwongeza ababaka bano omusaala sso ssi bbo kweyongeza buli webagalidde. Abalamuzi bano era balagidde gavumenti esasule Wilson Mwesigye […]
Abakyala bazaalira mmere
Agava e Karamoja waliwo okutya olw’omuwendo gw’abakyala abazaalira okumu kumu okweyongera. Kino nno kivudde ku mmere egabwa ku bwereere eri abakyala b’embuto nga bangi gyebaba babaza Okusinziira ku b’ebyobulamu, kino kyabulabe kuba amaka agasinga maavu ebitagambika nga gyebujja tebajja kusobola kubezaawo baana bano abazaalibwa. Omusawo […]
Omusajja yegaanye mukyala we
Omukazi atutte muganzi we ku poliisi ye Nalumunye ng’amuvunaana okugaana okumuddiza ssente zeyamwewolako n’okumusuula mu nju mu Kinaawa. Mariam Kawaala agamba nti bba Charles Luyombya nga wa boda boda abadde asussiza okukwana abakazi abalala era ssente n’azimalira kwabo Wabula Luyombya w’abuuziddwa ategezezza nga omuwala ono […]
Abe Ssembabule bakaaba
Omuduumizi wa poliisi e Sembabule alabudde ku bikolwa byonna ebimenya amateeka mu biseera bino eby’okulonda. Anatoli Katungwesi abadde ayogera ne banamawulire ategeezezza nti bangi abamenya amateeka nga berimbika mu bululu. Kiddiridde abantu abawerako abagambibwa okukwatibwa nebaggalirwa lwa butawagira gavumenti. Wabula eno abawagizi ba Mbabazi bagamba […]
Abawagizi ba Mbabazi balwanye na Museveni
Abawagizi b’eyali ssabaminista Amama Mbabazi bakungaanidde ku kisaawe kye Boma e Mbarara nga balindirira omuntu waabwe okwogerako gyebali Mbabazi eyabadde e Bushenyi olunaku lwajjo leero ali Mbarara n’enjiri ye eky’enkyukakyuka. Olukungaana luno lusuubirwa okutandika ku ssaawa nga kkumi ng’abasinga abamulinze bavubuka. Nga Mbabazi ategeka okwogerako […]
Buli maka gakufuna enkumbi 3- Museveni
Pulezidenti Museveni alagidde nti buli maka gaweebwe enkumbi ssatu okuyamba okwongera ku mmere erimwa buli maka. Enkumbi zino eziweza obukadde 18 zigenda eri amaka agaweza obukadde mukaaga okwetoloola eggwanga. Pulezident alagidde nti ensimbi ezigula enkumbi zino zissibwa mu mbalirira y’eggwanga era nga mu ngeri yeemu […]
Aba DP ne NRM balwanye
Poliisi kyaddaaki ekkakanyizza abawagizi b’ekibiina kya NRM n’aba DP abalwanaganye akawungezi akayise e Mukono. Ebibinja byombi byalwanidde ku ofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda nga aba NRM balumiriza akulira ebyokulonda e Mukono Sarah Namugambe okusunsula owa DP okusooka owaabwe. Aba NRM balumiriza omubaka Betty Nambooze okugulirira abakulira ebyokulonda […]
Aba FDC batabuse e Lubaga
Ab’ekibiina kya FDC abaagala ekifo kya ssentebe w’egombolola ye Lubaga buli omu agaanye okulekera munne era bonna balemedde mu lwokaano. Amyuka pulezidenti w’ekibiina kino mu Buganda Joyce Nabbosa SSebugwaawo ne John Kikonyogo bonna bagyeyo empapula zokusunsulibwa nga mukiseera kino Nabbosa ye ssentebe. Kikonyogo agamba alinze […]
Pulezidenti Museveni mwetegefu okuwaayo entebe
Omukulembeze w’eggwanga Yoweri Kaguta Museveni ategezezza nga bw’ajja okuwaayo obuyinza mu mirembe singa awangulwa mu kalulu ka 2016. Nga ayogererako mu maka g’obwapulezidenti mu Arua, pulezidenti ategezezza nga bw’atalina mululu gwakukulembera ggwanga kale nga singa bamumegga mu kalulu wakudda ewuwe alunde ente. Museveni wabula agambye […]