Amawulire

Eggaali y’omukka etandika bbalaza

Ali Mivule

December 2nd, 2015

No comments

Eggaali y’omukka esabaaza abantu yakutandika okukola ku bbalaza ya ssabbiiti ejja

Aba kkampuni y’eggaali y’omukka ekya Uganda Railway corporation kko ne KCCA beebalangiridde bino.

Akulira kkampuni eno Charles Kateeba agambye nti buli lunaku eggaali eno yakusabaza abantu emirundi ena ng’esooka yakusimbula ssaawa 6.30 ku makya, etuuke e Kampala ku ssaawa emu kitundu.

Olw’eggulo eggaali yakusimbula ku ssaawa kkumi okuva e Namanve etuuke mu kibuga ku ssaawa kkumi n’emu

Wajja kubaawo n’entambula bbiri okuggya abantu mu kibuga okubazza ewaka.

Tiketi z’eggaali zakugulwa nga mu kkampuni ya RVR era ng’ebifo ebirinyibwaamu biggya kuba Kampala, e Nakawa, Kireka, Namboole ne Namanve.