Amawulire

Mubeere bagumikiriza- Paapa

Mubeere bagumikiriza- Paapa

Ali Mivule

November 28th, 2015

No comments

File Photo: Papa nga engibwa emugwa ku mukoono

File Photo: Papa nga engibwa emugwa ku mukoono

Paapa Francis asabye abakkiriza okubanga abagumikiriza wakati mu buzibu n’okunyigirizibwa byebayitamu.

Bw’abadde akulembeddemu missa e Namugongo ku kiggwa ky’abakatuliki ,paapa ategezezza nti mu kadde kano ensi ejaguza kubanga waliwo abeewaayo olw’eddiini n’okukiriza kwaabwe kale nga n’abantu mu bulamu bwa bulijjo balina okuyiga okwewaayo.

Paapa asizza abantu essanyu bw’abagaaalizza omukisa mu Luganda olwo nebaanukuula Amiina wakati mu ssanyu.

Yye Ssabasumba we Ssaza ekkulu erye Kampala Dr. Cyprian Kizito Lwanga agambye nti okuttibwa kw’abajulizi kyekiviiriddeko okukula kw’obukirisitu ne Ekelezia era n’obukkiriza nebubuna.

Paapa yasoose kulambula kiggwa ky’abakulisitaayo ne kkaddiyizo ly’ebyafaayo e Nakiyanja gy’avudde n’ayimba mmisa mu bakatuliki.

Paapa abagenze e Namugongo abalekedde ssanyu jereere era nga betwogeddeko nabo bagamba nti obubaka bw’abawadde bagenda kubutambuza buli wamu.

Yye nno Namugongo yadde baamugobamu eby’okulya, abasuubuzi baasaze amagezi gonna era bangi banoze ku nsimbi.

Twogeddeko n’abatali bamu nga bagamba nti Namugongo abanyumidde yadde ate abalala bamukaaba nti ku luno tafunye bulungi.