Amawulire

Abavuganya gavumenti basse omukago

Ivan Ssenabulya

December 8th, 2017

No comments

Bya Kyeyune Moses Abavuganya gavumenti balangiridde omukago olwaleero nekigendererwa, okunafuya nokulwanyisa ennongosereza eza ssemateeka ezokujja ekkomo ku myaka gyomukulembezewe gwanga. Ebbago lino lyayanjulwa omubaka ssekinoomu owa Igara West, Rapheal Magyezi nekigendererwa okujjawo ennyingo 102(b) eya ssemateeka, eyateeka ekkomo ku myaka omukulembeze we gwanga gyalina okuberamu. […]

Uganda eweddemu ekirwadde kya Murburg

Ivan Ssenabulya

December 8th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Uganda erangiriddwa nti eweddemu ekirwadde kya Marburg. Kino kikakasiddwa Ministry yebyobulamu oluvanyuma lwe nnaku 42, nga tewaliiwo Muntu mulalal yafudde okuva nga 26th October ekirwadde kino lwekyakaksibwa. Mu lukungaana lwabanamwulire olutudde ku Media Center, minister omubeezi owebyobulamu Sarah Opendi ategezeza nti Marburg […]

Omuliro gukutte eterekero ly’ebintu e Ntinda.

Ivan Ssenabulya

December 8th, 2017

No comments

Bya ben Jumbe       Nabbambula w’omuliro akedde kukwata ekifo omuterekebwa aby’amaguzi wali e Ntinda okukakana  nga ebintu by’abukadde bitokomose. Twogedeko ne Joseph Mugisa nga ono y’adumira police ezikiriza omuliro n’atugamba nti omuliro guno gukutte ekifo omuterekebwa engato z’abasubuzi aba-china kko ne toilet papers. […]

Abavunanwa mu musango gwa Kaweesi bagala balye butaala

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah Abantu 12 abagambibwa okwetaba mu kutemula eyali omwogezi wa police Andrew Felix Kaweesi basabye kooti ye Nakawa ewulira omusango gwabwe okubagyako emisango egybaggulwako kubanga obujulizi bulabika bubuze. Bano babade balabiseeko mu maaso gomulamuzi Noah Sajjabi okumanya okunonyereza ku misango gyabwe wekutuuse, kyoka […]

Kyambogo yakusazaamu obuyigirize bwabayizi

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2017

No comments

Bya Damalie Mukhaye Ettendekero lye Kyambogo lyakusazaamu obuyigirize bwabayizi 1,000 nomusobyo nga kigambibwa nti bano bajingirira, ebipalatti ebibakairizza okutuula ebigezo. Bwabadde ayogera ne banamwulire amyuka ssenkulu we Kyambogo Prof Elly Katugunka agambye nti abasing ku bayizi abakola ebigezo ebikyagenda mu maaso baali tebatekeddwa, olwobutatukiriza bisanyizo […]

Ababaka balangiridde ennaku 7 eza-Tijikwatako

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2017

No comments

Bya Kyeyune Moses Ababaka ba palamenti ku ludda oluvuganya gavumenti, balayidde okulwana wakiri okufirawo, okuwakanya ebyokujja ekkomo ku myaka. Ababaka okuli obwa Butambala Muwanga Kivumbi, owa munispaali eye Rukungiri Roland Kaginda, owa Rubaga North Moses Kasibante nowa Kawempe North Abdul Lateef Ssebaggala nabalala basinzidde mu […]

Banna uganda muyige amateeka agakwata ku by’etaka.

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2017

No comments

Bya Rita Kemigisa. Banna- uganda basabiddwa okufaayo okusoma amateeka g’ebyetaka gonna okusobola okwegobako banakigwanyizi abakozesa olukujukujju okubba etaka lyabwe. Kuno okusaba kukoleddwa Emilian Kayaima  ayogerera Police ya uganda, nga  ono aliko n’akatabo keyawandiika nga alambika ebikwata ku bwananyizi kutaka. Kayima ono agamba nti banna-uganda bangi […]

Ensimbi za gavumenti ziggwera mubagwiira-Minister munyiivu.

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2017

No comments

Bya samuel ssebuliba.   Banna-Uganda basabiddwa okufuba okulaba nga balembeka ku nsimbi enyingi ezitekebwa mu by’okuzimba enguudo, kko nebirala buli mwaka. Bwabadde ayogerera mu lukungana olulwata ku by’enfuna  olwategekedwa NTV akawungezi akayise, Minister akola ku by’ensimbi Matia kasaijja  yagambye nti buli mwaka gw’abyansimbi ateeka  obutabalika […]

Abayiimba Wummula batereddwa ku kakalu

Ivan Ssenabulya

December 6th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah Abayimbi babiri abavunaniddwa olunnaku olwe ggulo nebasindikibwa ku alimanda e Luzira olwokutatatana erinnya nekitiibwa kyomukulembeze we gwanga. Jonah Muwanguzi producer woluyimba WUMULA nomuyimbi David Mugema bayimbuddwa ku akkalu ka kooti mu maaso gomulamuzi we ddaala erisooka ku Buganda Road Gladys Kamasanyu. Bano […]

Gavumwenti eyanirizza okulondebwa kwa Balungi Bbosa

Ivan Ssenabulya

December 6th, 2017

No comments

Bya Samuel Ssebulira Gavumenti eyozayozezza omulamuzi Solome Balungi Bossa olwokulondebwa ngomu ku balamuzi 6, abagenda okutuula mu kooti yensi yonna. Ono yalondeddwa mu kibuga New York, mu gwanga lya America. Minister owensonga ze bweru we gwanga Henry Okello Oryem, agamba nti kiraga nti Uganda erina […]