Amawulire
Abavunanwa mu musango gwa Kaweesi bagala balye butaala
Bya Ruth Anderah
Abantu 12 abagambibwa okwetaba mu kutemula eyali omwogezi wa police Andrew Felix Kaweesi basabye kooti ye Nakawa ewulira omusango gwabwe okubagyako emisango egybaggulwako kubanga obujulizi bulabika bubuze.
Bano babade balabiseeko mu maaso gomulamuzi Noah Sajjabi okumanya okunonyereza ku misango gyabwe wekutuuse, kyoka kibewunyisizza bwebaziddwa ku alimanda e Luzira oluvanyuma lwabawaabi ba gavumenti obutabaawo.
Kati bano bagamba nti kekadde bayimbulwe kubanga oludda oluwaabi lulemereddwa okuleeta obujulizi obubaluma ku misango ejibavunanwa.
Abavunaanwa bamaze ku alimanda ennaku ezisoba mu 188 ezirambikibwa mu mateeka.
Oluvanyuma lwa bano okwekubira enduulu, mulamuzi atadewo olwanga 21st ngolunaku kwagenda okusalirawo ku nsonga eno.