Amawulire

Abayiimba Wummula batereddwa ku kakalu

Ivan Ssenabulya

December 6th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah

Abayimbi babiri abavunaniddwa olunnaku olwe ggulo nebasindikibwa ku alimanda e Luzira olwokutatatana erinnya nekitiibwa kyomukulembeze we gwanga.

Jonah Muwanguzi producer woluyimba WUMULA nomuyimbi David Mugema bayimbuddwa ku akkalu ka kooti mu maaso gomulamuzi we ddaala erisooka ku Buganda Road Gladys Kamasanyu.

Bano balagiddwa okusasula akakdde 1 eza buliwo buli omu nababeyimiridde obukadde 10, ezitabadde zamu mpeke.

Bano bavunanibwa okuyimba ebisasamaza era ebisiga obukyayi nokwonoona erinna lyomukulembeze we gwanga.

Okusinziira ku ludda oluwaabi Jonathan Muwanguzi ne David Mugema nabalala abakyayigibwa mu mwaka gwa 2015 ne 2017 awo kulwe Salaama mu gombolola ye Makindye mu Kampala bayiiya oluyimba, mu kwekobaana songa byebakola byali bimenya mateeka.