Amawulire

Ssabasajja akungubagidde omugenzi Kokonyogo

Ivan Ssenabulya

November 30th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde eyali omumyuka wa ssabamulamuzi wa Uganda . Mu bubaka bwa Ssabasajja bwawerezza omwami womugenzi Omwek. Joseph Kyagulanyi Kikonyogo nga busomedwa omumyuka wakatikkiro asooka Emmanuel Ssendaula wali mu lutiiko e Lubaga, bulambikidwa nokusaasira okungi. Ssabasajja atusizza okusasira eri ba […]

Eteeka ku bakazi abasobya ku basajja lijja.

Ivan Ssenabulya

November 30th, 2017

No comments

Bya samuel ssebuliba   Ababaka ba Parliament abakyala abaludde nga balafubana okulaba nga eteeka ku kikolwa eky’okusobya ku bakyala liyisabwa, kati bagamba nti baagala kugatako n’akawayiro akalala akavunana abakyala abasoba ku basajja. E bago lye teeka lino elya sexual offences bill 2015, lirudde nga liwakanyizibwa […]

Police ezudde omulambo wano mu Industrial Area.

Ivan Ssenabulya

November 30th, 2017

No comments

Bya Andrew Baagala. Wano mu industrial area ku luguudo number munaana okumpi ne office za total, Police eriko omulambo gwezuddewo nga guzingidwa mu bokisi negusulibwa mu kidumu ekitwala amazzi Aberabideko nagaabwe bagamba nti omulambo guno gubadde gw’amusajja, wabula nga abaamusse bamutemyetemye nebamuteeka mu kibokisi olwo […]

Nigeria egobye abakozi 4,000 ebalanze kubeera bazembe.

Ivan Ssenabulya

November 30th, 2017

No comments

Bya samuel ssebuliba. Mu Nigeria government etaamye  n’egoba abakozi  abasoba mu 4,000  mu saza lye Kaduna nga bano ebalanze kubeera bazembe. Abakulu mu government bagamba nti government ebadde efiirwa ensimbi nyingi mu bakozi nga bano abakungaanya omusala  kyoka bwekituuka mukukola nebaddira waka. Guno sigwegusoose government […]

Abalunzi aba-Turkana ababa ente mu Karamoja beraliikirizza amagye ga UPDF.

Ivan Ssenabulya

November 30th, 2017

No comments

Bya Steven Ariong.   E Karamoja  abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo  olunaku olw’egulo baasibye mukafubo ak’enjawulo nga bateesa kubutya bwebagenda okulwanyisa  abalunzi aba Turkana abava mu Kenya nebanyaga ente mu  Karanoja. Olukiiko luno lwayitiddwa aduumira amaggye ge gwanga Gen. David Muhoonzi , minister we  Karamoja Eng […]

Mukome okusabiriza gavumenti- Pulezidenti akyomedde abakulira ebibuga.

Ivan Ssenabulya

November 30th, 2017

No comments

Bya Malik Fahad. Omukulembeze we gwanga Yoweri kaguta Museveni awadde amagezi abakulembeze b’ebibuga eby’enawulo okufuba okulaba nga bayiiya engeri gy’ebafunamu ensimbi ez’okudukanya emirimo gyabwe, mukifo ky’okusabiriza government. Kuno okuwabula Museveni akukoledde masaka bwabadde agulawo tabamiruka w’abakullira ebibuga eby’enjawulo ebagatura mukibiina kyabwe ekya Urban Authorities Association […]

Aba UPDF mu Somalia babanja kati emyezi 3

Ivan Ssenabulya

November 29th, 2017

No comments

Bya Samuel Ssebuliba Amagye ga Uganda amakuuma ddembe mu gwanga lya Somalia kitegezeddwa nti, teganasasulwa akasiimo kati okumala emyezi. Okusinziira ku minister owabazirwanako Bright Rwamirama abaana battu basemba okusasulwa mu August owomwaka guno. Rwamirama abadde alabiseeko mu kakaiiko ka palamenti akebyokwerinda nensoga zomunda mu gwanga, […]

Bamusse lwakubba mwanyi

Ivan Ssenabulya

November 29th, 2017

No comments

Bya Abubaker Kirunda Abatuuze abakaawu bakidde omusajja owemyaka 40 nebamukuba okutuka okumutta, nga bamulumiriza okubba emwanyi. Bino bibadde ku kyalo Nakawa mu town council ye Bowa mu district ye Bugiri. Omugenzi ategerekese nga Simon Pamba nga kigambibwa nti abadde aliko kiro ze mwanyi 15 zeyabbye okuva […]

Gwebatebereza okubba ente bamusse

Ivan Ssenabulya

November 29th, 2017

No comments

Bya Malikh Fahad Police mu district ye Kalungu etandise okunonyereza kungeri abatuuze gyebatwalidde amateeka mu ngalo nebatta omusajja gwebabadde batebereza okubba ente. Omugenzi poliisi emumenye nga Asuman Mutumba omutuuze we Birongo mu ggombolola ye Lwabenge, mu district ye Kalungu. Kigambibwa nti Mutumba ono bamuguddeko lubona […]

Abadde agenze okubanja bamuyiridde butto

Ivan Ssenabulya

November 29th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Abadde agenze okubanja bamwokezza buto kankano ali mu mbeera mbi ddala. Stanley Kiberu omutuuze we Kasangati ku kyalo Seeta nga mukubi wa bulooka, apokya na biwundu bya butto oluvanyuma lwa munne ategerekeseko erya Ivan Sekito okumumuyiira bwabadde agenze okumubanja sente za matoffali […]