Amawulire

Ssabasajja akungubagidde omugenzi Kokonyogo

Ivan Ssenabulya

November 30th, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde eyali omumyuka wa ssabamulamuzi wa Uganda .

Mu bubaka bwa Ssabasajja bwawerezza omwami womugenzi Omwek. Joseph Kyagulanyi Kikonyogo nga busomedwa omumyuka wakatikkiro asooka Emmanuel Ssendaula wali mu lutiiko e Lubaga, bulambikidwa nokusaasira okungi.

Ssabasajja atusizza okusasira eri ba mulekwa nabenganda bonna, mungeri eyenjawulo nakubagizza Eklezia katolika olwokufirwa omukiriza omugindivu eyaweebwa nekitibwa ekyobusirikale bwa paapa.

Olwaleero omubiri gweomugenzi Letitia Mukasa Kikonyogo, gusabiddwa wali ku lutikko e Rubaga.