Amawulire

Omusawo ow’ekikwangala akwatidwa e Kabale.

Ivan Ssenabulya

November 23rd, 2017

No comments

Bya samuel ssebuliba E Kabale agavaayo galaga nga Police bwetandise okunonyereza ku musajja agambibwa okwefuula omusawo n’atandika okukuba abantu empiso. Akwatiddwa ategerekese nga Alex Arineitwe owe myaka 47 nga  ono mutuuze we Kashakyi mu gombolola ye Bubare Rubanda district. Okunonyereza okusooka kulaze nga omusawo ono […]

Omubaka Nambooze akomawo leero okuva mu India.

Ivan Ssenabulya

November 23rd, 2017

No comments

Bya Shabibah Nakirigya Omubaka we municipali ye Mukono omukyala Betty Nambooze tutegeezedwa nga bwasubirwa olunaku olwaleero okudda mu gwanga okuva mu India gy’aludde ebanga nga ajanjabirwa. Omu kubakungu ba democratic party Elvis Kintu agamba nti Nambooze yalongosebwa enkizi, era n’awona bulungi, kale nga ekisigadde kudda […]

Poliisi ezinzeeko amaka ga Nyazaala wa Dr. Agrey Kiyingi mu district ye Mpigi

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Police mu district ye Mpigi ezinzeeko amaka ga Nayiga Kasibante, maama woomu ku bateberzebwa okwetaba mu kitta bakulembeze babayisiraamu. Nayiga kasibante ye maama wa Aisha Nakasibante abobuyinza gwebatereza okwetaba mu ttemu erizze likolebwa ku basiraamu songera ye nyazaala wa Dr Aggrey Kiyingi. […]

Eyali ssentebbe wolukiiko lwabazadde ku ssomero bamukutte lwakufunyisa mwana lubutto

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2017

No comments

Poliisi mu district ye Moyo eriko eyali ssentebbe wolukiiko lwabazadde be ssomero lya Eremi P/S mu ggombolola ye Metu ku bigambibwa nti aliko omwana owekyomusanvu ku ssomero eryo gweyatikka olubutto. Wabula kigambibwa nti oluvanyuma lwomwana ono okusoba, yamuwa eddagala egganda nalujjamu, ekyaviriddeko omwana okufuna ebirwadde. […]

Waliwo abatwalidde amateeka mu ngalo e Ssambabule nebasanyawo amaka ga mutuuze munaabwe

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2017

No comments

Bya Malikih Fahd Poliisi ye Lugusulu mu district ye Sembabule etandise okunonyereza kungeri abatuuze gyebatwalidde amateeka mu ngalo nebalumba, amaka ga munaabwe nebonoona buli kyebasanze, nga byekuusa ku nkayana ze ttaka. Abantu abatanaba kutegerekeka balumbye amaka ga Dennis Luzero nebakoona ennyumba yonna ppaka ku ttaka […]

Omusomesa bamukutte yeraguza

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Mu distrct ye Mpigi police ekutte omusomesa we ssomero lya Mpigi UMEA ngemulanze kusalimbira ku kitebe kyebyenjigiriza e Mpigi. Ono asangaiddwa ngamasansa ebya wongo mungeri yokweraguza. Omu ku bakyala ababade bakedde okulongoosa agamba nti alabye omukyala ono ngaliko eddagala lyamansa, kwekukuba endulu […]

Abasawo bakusalawo ku Lwomukaaga oba bagenda mu maaso nakediimo

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Abasawo mu kibiina kyabwe ekibataba ekya Uganda Medical Association bategezeza nti ku lunnaku Lwomukaaga lwebagenda kusalawo, oba banadenda mu maaso nakediimo kaabwe mu ttabameruka wekibiin agenda okutuula. Bwabadde ayogera ne banamawulire ku Mulago guest house, presidentwabasawo Dr Ekwaro Obuku agambye nti olukiiko […]

Poliisi ekutte aba taxi 30 mu kulwanagana okubaddewo

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2017

No comments

Bya Ritah kemigisa Abagoba ba taxi amakumi 30 bebakwatiddwa poliisi wano mu Kampala oluvanyuma lwokulwanagana okubadde mu paaka ya taxi Enkadde abekitongole kya KCCA, abakwasisa amateeka bwebabadde mu kikwekweto kyokubowa mmotoka ezibadde zitasasula ebisale ebya buli mwezi. Abagoba ba taxi bubefuse naba KCCA, nga bawakanya […]

Obubaka bwa Ssabasajja ku lunnaky lwa’baami

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2017

No comments

Bya Shamim Nateebwa Nga tukuza olunaku lwabaami munsi yonna omwaka guno, kirunji twefumitirize ku bitukiddwako nebyo ebitanaba mu kulwanyisa obulwadde bwamukenya. Buno bwebubaka bwa Ssabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi 11 bwawerezza bana-Uganda, mwajukiriza abasajja nabalenzi nti teri ddagala ligema wadde okuwonya silimu, nomulanga okwekuuma. Omutanda […]

Abatuuze ba Kampala ne Wakiso baakufuna obutimba bw’ensiri.

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2017

No comments

Bya Shamin Nateebwa. Ministry ekola ku by’obulamu etegeezeza nga bwegenda okutandika okuwandiika abantu abagenda okufuna obutimba bw’ensiri mu district ebiri okuli wakiso ne kampala okutandika ne sabiiti ey’okubiri eya December ate okubugaba kutandike mu February 2018. Twogedeko n’omukwanaganye w’ekiwendo ekyatuumidwa –Goba malaria nga weebaka mu […]