Amawulire

Omubaka Nambooze akomawo leero okuva mu India.

Ivan Ssenabulya

November 23rd, 2017

No comments

Bya Shabibah Nakirigya

Omubaka we municipali ye Mukono omukyala Betty Nambooze tutegeezedwa nga bwasubirwa olunaku olwaleero okudda mu gwanga okuva mu India gy’aludde ebanga nga ajanjabirwa.

Omu kubakungu ba democratic party Elvis Kintu agamba nti Nambooze yalongosebwa enkizi, era n’awona bulungi, kale nga ekisigadde kudda waka ayongere okukikirira.

Kinajukirwa nt Nambooze ono yoomu kubabaka abaakubwa ebitagambika bwebaagezaako okuwaakanya eky’okujja ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga.

Ono asuubirwa okutuuka ku kisaawe Entebe olwegulo lwa leero.