Amawulire

Waliwo abatwalidde amateeka mu ngalo e Ssambabule nebasanyawo amaka ga mutuuze munaabwe

Ivan Ssenabulya

November 22nd, 2017

No comments

Bya Malikih Fahd

Poliisi ye Lugusulu mu district ye Sembabule etandise okunonyereza kungeri abatuuze gyebatwalidde amateeka mu ngalo nebalumba, amaka ga munaabwe nebonoona buli kyebasanze, nga byekuusa ku nkayana ze ttaka.

Abantu abatanaba kutegerekeka balumbye amaka ga Dennis Luzero nebakoona ennyumba yonna ppaka ku ttaka nebasaawa nolusuku yiika namba nomusobyo.

Wabula agamba nti abadde nenkayana ne mulirwana we eze ttaka, ngabaddenga amutiisatiisa mungeri yokulabula nti ave ku ttaka abeera.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu Lameck Kigozi akaksizza obulumbaganyi buno, nategeeza nti okunonyererza kugenda mu maaso.