Amawulire

Aba UPDF mu Somalia babanja kati emyezi 3

Ivan Ssenabulya

November 29th, 2017

No comments

Bya Samuel Ssebuliba

Amagye ga Uganda amakuuma ddembe mu gwanga lya Somalia kitegezeddwa nti, teganasasulwa akasiimo kati okumala emyezi.

Okusinziira ku minister owabazirwanako Bright Rwamirama abaana battu basemba okusasulwa mu August owomwaka guno.

Rwamirama abadde alabiseeko mu kakaiiko ka palamenti akebyokwerinda nensoga zomunda mu gwanga, ategezezza ababaka abatuula ku kakiiko kano nti kivudde ku mbaliirra yaabwe eyomwaka gwebyensimbi 2016/17, eyalika.

Agambye nti baweebwa akesede 1 nekitundu .songa betaaga obuse  2 nomusobyo.

Ono ayogedde ku bbeyi yebintu eri waggulu nga emmere, amafuta, engoye nebiralala ebyetaago ebyolutentezi.

Rwamirama agamba nti buli mujaasi atekeddwa okusasulwa 100 US Dollars nga gyemitwalo 36 buli mwezi.