Amawulire

Abalunzi aba-Turkana ababa ente mu Karamoja beraliikirizza amagye ga UPDF.

Ivan Ssenabulya

November 30th, 2017

No comments

Bya Steven Ariong.

 

E Karamoja  abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo  olunaku olw’egulo baasibye mukafubo ak’enjawulo nga bateesa kubutya bwebagenda okulwanyisa  abalunzi aba Turkana abava mu Kenya nebanyaga ente mu  Karanoja.

Olukiiko luno lwayitiddwa aduumira amaggye ge gwanga Gen. David Muhoonzi , minister we  Karamoja Eng John Byabagambi ,kko nabakulira ekibinja ky’amagye eky’okusatu e Moroto.

Bano webaviirideyo  nga  abalunzi bano basala nebajja mu uganda  kubba ente, era nga gyebuvudeko amagye ga UPDF gatako omulunzi omu, ko n’okununula ente ezisoba mu 33 zebaali babye.

Mu kaseera kano Karamoja  esuza abalunzi abaduka mu Kenya abasoba mu 70,000 nga bano bajja n’ente ezisoba mu mitwalo 100,000.