Amawulire

Abavuganya gavumenti baddukidde mu kooti eyimirize palamenti

Ivan Ssenabulya

December 11th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah Abakulira ebibiina ebivuganya gavumenti 3 baddukidde mu kooti enkulu nga bagala eyimirize palamenti obutagenda mu maaso okuteesa ku byokujja ekkomo ku myaka, okujjawo ennyingo 102(b) eya ssemateeka. Bano bagamba kinaaba kikyamu awatali kwebuuza ku bantu babulijjo mu kalulu akekikungo. Abamu ku baddukidde […]

gavumenti ekanyizza okwongeza abakozi emisaala

Ivan Ssenabulya

December 11th, 2017

No comments

Bya Ritah Kemigisa Gavumenti ekanyizza okwongeza abakozi baayo bonna emisaala, okutandika ne July wa 2018 mu mwaka gwebyensimbi ogujja. Bwabaddea ayogera ne banamwulire ku Media Center mu Kampala, minister wabakozi ba gavumenti Muruli Mukasa agambye nti kino kyatukiddwako mu lutuula lwa Cabineeti olwenjawulo olwabadde lukubirizibwa […]

Omusango gwa Gashumba gwongezeddwawo mu January

Ivan Ssenabulya

December 11th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah Kooti ya Buganda eyongezaayo omusango gwomutapusi wensonga ezitali zimu mu gwanga Frank Gashumba okutukira ddala nga January 16th wa 2018 egyobufere.   Kino kivudde ku nsisinkano yabalamuzi egenda mu maaso ku kooti enkulu wano mu Kampala.   omulamuzi Charles Yeteise yayongezaayo omusango […]

Poliisi erabudde ku kutongoza Tojikwatako

Ivan Ssenabulya

December 11th, 2017

No comments

Bya Sam Ssebuliba Police mu Kampala nemiriraano erabudde ababaka ba palamenti nabantu babulijjo, ku ntekateeka zokutongoza wiiki eya ‘’togikkwatako’’ envunula bibya kubanga kinaaba kimenya mateeka. Wiiki ewedde ababaka ku ludda oluvuganya gavumenti balangirira entekateeka, ezokutongoza Tokikwatako butto, mu nnaku 7, nga bawakanya ekye nongosererza mu […]

Abamu ku babaka bagenda kuwandiika alipoota ekontana

Ivan Ssenabulya

December 11th, 2017

No comments

Bya Kyeyune Moses Abamu kubabaka abali mu parliament bategeezeza nga bwebagenda okuwandiika alipoota eyabaabwe nga bawakanya ebago lino Ababaka bano okuli owa Kumi – Monicah Amoding owa  Ndorwa East -Wilfred Nuwagaba  owe Lwemiyaga – Theodore Sekikubo bagamba nti tebakaanya na alipoota eyakoleddwa, kale nga bo […]

Ababaka bawagidde okujikwatako

Ivan Ssenabulya

December 11th, 2017

No comments

Bya Kyeyune Moses Ku nsonga z’okukyusa ekomo ku myaka gy’omukulembeze we gwanga, tutegeezedwa nga omubaka wa Igara West Raphael Magyezi era nga yeyaleeta ebago lino bwasanyukidde ekyababaka ba parliament ku kakiiko kano okuwagira eky’okugikwatako. Kinajkirwa nti agaasomoddwa, galaga nga ababaka bano abaabade mu kuwandiika alipoota […]

Aba NRM banukudde ku alipoota ya CCEDU

Ivan Ssenabulya

December 8th, 2017

No comments

Bya Benjamin Jumbe NRM bagambye nti tebagenda kuterebuka olwa alipoota ezifuluma ezibamalamu amaanyi. Kino kidiridde alipoota efulumiziddwa aba CCEDU, eraze nti banna-Uganda 85% tebawagira byakujja kkomo ku myaka gyomukulembeze. Omukwanaganya wa CCEDU, Dr Livingstone Ssewanyana asabye palamenti okuwuliriza okusaba kwabantu mu nsonga zino wabula bwabadde […]

Poliisi ekutte abafumbo lwakutulugunya mwana

Ivan Ssenabulya

December 8th, 2017

No comments

Bya Magembe Sabiiti Poliisi e Mubende ekutte  abafumbo, Yiga Peter ne mukyala we Babirye Eva abatuuze ku kyalo Kirungi lwakutulugunya mwana wabwe Muwonge Ssepiriano. Bano babadde omwana bamusiibya ku miggo n’okumwokya amazzi ku lubuto. Mayor wa Division Kasigazi Beatress ategezeezza nga bwebabakute  abafumbo  bano oluvanyuma lw’okutemezebwako abatuuze. Omukwate Yiga Peter mu kwewozaako ategezeezza nti talina busobozi bulabirira mwana wabula […]

Omusirikale asse omuntu

Ivan Ssenabulya

December 8th, 2017

No comments

Bya Malikh Fahad Entisa ebuutukidde abatuuze be Lwemiyaga mu district ye Sembabule omupoliice bwavudde mu mbeera n’akuba amasasi mu bantu okukakana ngasse omuyizi n’okulumya taata we. Omupolice ono abadde agenze kuwerekere ba wanyondo ba kooti ababade bagoba abantu ku ttaka wakati mu kavuyo nabatuuze nakuba […]

Omulabirizi Kibuuka bamujjeeko emisango

Ivan Ssenabulya

December 8th, 2017

No comments

Bya Ruth Anderah Omulamuzi we ddala erisooka ku kooti ya Buganda Road Charles Yeteise akiriziganyizza ne bbaluwa evudde ewa Ssabawaabi wa gavumenti Mike Chibita, okusuula emisango egyali gyavunanibwa omulabirizi owenzikriza yaba-Evangelical Orthodox, Bishop Jancito Kubuuka. Ebaluwa ejjayo omusango eyawandikidwa na 29th November eretedwa omu-police Mark […]