Amawulire

Ensimbi za gavumenti ziggwera mubagwiira-Minister munyiivu.

Ivan Ssenabulya

December 7th, 2017

No comments

Bya samuel ssebuliba.

 

Banna-Uganda basabiddwa okufuba okulaba nga balembeka ku nsimbi enyingi ezitekebwa mu by’okuzimba enguudo, kko nebirala buli mwaka.

Bwabadde ayogerera mu lukungana olulwata ku by’enfuna  olwategekedwa NTV akawungezi akayise, Minister akola ku by’ensimbi Matia kasaijja  yagambye nti buli mwaka gw’abyansimbi ateeka  obutabalika nga 7 mu by’okukola enguudo, wabula kiruma okulaba nga zino zonna zigwera mu nsawo z’abagwira abajja.

Ono agambye nti omwaka guno government eri mukuzimba enguudo 32 , nga togaseeko enguudo z’amafuta omunaana, wabula bonna abazikola bagwira.

Kati ono abye banna- uganda okwekolamu company ezamaanyi bavuganye ku tenda nga zino.