Amawulire
Enguudo ze mityana zaakutekebwako ebitaala.
Bya Babra Nalweyiso. Mityana: ekizikiza ku nguudo z’eMityana kyolekedde okufumwa ,oluvanyuma lwa municipality okuvaayo n’entekateka ey’okusimba ebitaala ku nguudo. Esther Ndyanabo nga ono ye Mayor owa municipaali y’eMityana ategezeza nti batandise okuteeka ebitaala ku ngundo nga bagenda kusooka n’oluguudo olumanyiddwa nga station road nga kuno […]
Okumeruka kw’ebibuga ebitali bitekateeka kukanze gavumenti.
Bya ssebuliba samuel Government eraze obw’enyamivu olw’ebibuga ebimeruka mu buli kasonda, kyoka nga tebiri ku ntekateeka ntuufu Mukaseera kano ebibuga nga bino bikulira ku misinde gya 5%, era nga bannayuganda ebitundu 20% basula mu bibuga bino . Bwabadde alanga omwoleso gw’ebibuga ogwa […]
Abalamuzi babiri bakaanyizza.
Mbale ewali omusango ogw’okukyusa mu ssemateeka agavaayo galaga nga abalamuzi ba kooti ejulirirwamu babiri bwebakaanyiza ku ky’okugaana ababaka okweyongeza emyaka bave ku etaano okudda ku musanvu. Omulamuzi Elizabeth Musoke akaanyiza ne justice Chebrion Barishaki nti ababaka tebagoberera ssemateeka nga beyongeza emyaka. […]
Okunoonya akalulu e Bugiri kuwedde.
Bya Samuel Ssebuliba. Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni asabye abantu be Bujuri obutakola nsobi ku lw’okutaano , wabula balonde munna-NRM Francis Okecho nga omubaka wekitundu kino nga 27th Friday. Bwabade ayogerera mukuyigga akalulu kamunna-NRM agambye nti NRM sikibiina kyakwogera wabula kukola, era […]
Abawakanya Okujikwatako baabasudde ettale
Bya Kyeyune Moses Nampala wa gavumenti Ruth Nankabirwa awakanyizza ebyogerwa nti okukyusa okyusa obukulembeze bwaba ssentebbe bobukiiko bwa palamenti bakyesigamizza ku bawagira aennongosererza eza ssemateeka oba Tijokwatako nabatwagira. Bino webijidde ngababaka abasing abawakanya ennongosererza zino basuliddwa ettale okuva mu biffo byebabaddemu. Omubaka omukyala owa district […]
Twekobe ekitundu ekisooka kitongozeddwa.
Bya Shamim Nateebwa. Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi olunaku olwaleero akwasiddwa ekitundu ekisooka ekya Twekobe ejjudde ng’ono ateereddwaamu ebintu ebituukaana n’omulembe. Kinajukirwa nti olubiri lwe Mengo lwalumbibwa mu mwaka 1966 nga 24 May, era ebintu bingi byabbibwa ate ebirala ne byonoonebwa. […]
Basentebe okusaba ebitundu 10% kuwereddwa.
Bya Ritah Kemigisa. Ministry ekola ku government ez’ebitundu etegeezeza nga bweweze eky’abasentebe b’ebyako okusaba abantu 10% ku nsimbi zebajja mutaka ly’ebatunda. Bwabadde ayogerako ne banamawulire ku ntekateka z’okulonda basentebe ba LC2 nga 27th , minister omubeezi owa government ez’ebitundu Jenifer Namuyangu agambye nti […]
Polisi ezeemu okuwenja omubaka Robert Kyagulanyi.
Bya Damali Mukhaye. Police etutegeezeza nga bwesazizaamu akakalu kweyali eyimbulidde omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu , era nga kakano file ye egenda mu kooti. Kinajukirwa nti ono police yamuggulako omusango ogwokwekalakasa olw’omusolo ogwatekebwa ku social media, era abawerako kubyeli nabo […]
Sipiika akaladde kuby’okujawo airtime ow’okutakula.
Bya Moses Kyeyune. Speaker wa Parliament omukyala Rebeca Kadaga alagidde akakiiko akakola ku by’empuliziganya okwanguwa okunyonyola parliament kwaki baaweze ookukozesa airtime ow’okutakula. Speaker okuvaayo kidiridde omubaka we Busiki Hon Paul Akamba okwemulugunya nga bannayuganda bwebatereddwa mukunyigrizibwa okutagambika era nga bangi tebakyasobola nakuteeka airtime […]
Abanaakola emikolo ku kabaka bamaze okusunsulwa.
Bya Samuel Ssebuliba. Olukiiiko olutekateeka omukolo gw’amatikira ga ssabasajja kabaka aga Jubileo lulabudde abantu abalina okubaako emikolo gyebakola ku kabaka wabula nga tebaayitiddwa obutageza kwesukulumya. Bwabadde ayanja entekateeka zino, Owek, Hajji Twaha Kawaase agambye nti ebika nga ab’obutiko abazina amazina amagunju nab’embogo abakongojja kabaka […]