Amawulire
Eyasobya ku mwana wa mukamaawe akaligiddwa.
Bya Ruth Anderah Waliwo omukuumi waawaka asimbiddwa mu kkooti enkulu mu Kampala naasingisibwa omusango gw’okusobya ku mwana wa mukama we ate ng’alina akawuka akaleeta mukenenya. Ochan Mathew asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Jane Francis Abodo namusingisa omusango oluvanyuma lw’okwekenenya obujulizi obwaletebwa oludda oluwaabi […]
Ababazi b’ebitabo abanafu baakugobwa.
Bya Samuel ssebuliba. Ministry ekola by’ensimbi ekaanyiza n’akakiiko akakola ku by’abakozi okubonereza ababazi b’ebitabo bya government ku mitendera gyonna abanasangibwa nga bazembe oba okubulankanya ensimbi. Bweyabadde alabiseeko eri akakiiko ka parliament akakola ku government ez’ebitundu, omuwandiisi ow’enkalakalira mu ministry ekola ku by’ensimbi […]
Eyasobya ku mwana ow’emyaka omusanvu akaligiddwa.
Bya Ruth Anderah. Omuvubuka eyasoberera omwana ow’emyaka 7 ng’ava kuluzzi namutusako ogwabulisa manyi kkooti enkulu mu Kampala egumusingisiza. Sali Dezideriyo nga abade yaakamala emyaka ebbiri mu komera e Luzira asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Jane Francis Abodo namusingisa omusango. Sali omusango yaguza nga […]
Eyali omuyambi wa Gen Kayihura wakuyiggibwa.
Bya Kato Joseph. Police ewadde eyali omuyambi wa Gen Kale kaihura enaku 2 zokka nga komyeewo mu polisi oba sikyo kitwalibwe nti yaduka mu polisi. Ono nsalesale amuwereddwa aduumira polisi Martins Okoth Ochola, nga ono ategeezeza nti omukulu ono Jonathan Baroza baali baamuwa […]
Gavumenti eyanjudde ebbago lye nnongosereza mu tteeka ku musolo
Bya Kyeyune Moses Gavumenti eyanjudde ebbago lye nnongosereza mu tteeka lyomusolo eri palamaneti. Ebbago lino lyanjuddwa Minister webyensimbi Matia Kasaiaja. Kino kidiridde gavumenti okwekuba amu mutima, oluvanyuma lwokulajana aokungi olwomusolo ogwasukirira ogubadde gujibwa aku Mobile money neku mikuttu muyunga bantu. Kati mu nnongosereza gavumenti zeyagala, […]
Kayihura wakusigala mu kadukulu
Bya Moses Kyeyune Eyali ssbapoliisi we gwanga Gen Kale Kayihura wakujira ngabeera mu kkomera waddenga kiri wabweru wamateeka. Gen Jje Odongo abadde ayanukula ku kwemulugunya okuleteddwa minister wensonga zomunda amu gwanga, mu gavumenti eyekisikirize Muhamed Muwanga Kivumbi akaladde okubuuza lwaki Kayihura bakyamugalidde, nokusukka essaawa eziri […]
Obulumbaganyi ku social Media bwa’badde bwa bulimba
Bya Moses Kyeyune Minister owensonga zomunda amu gwanga Rtd. Gen Jeje Odongo ategezezza palamenti eggulo lino, nti ebyalabikidde ku mikuttu gya social media nga balaliika obulumbaganyi ku bantu, bwali bulimba. Kino kyadirira omubaka wa munisipaali ye Gulu Lyandro Komakech okwemulugunya, nokulaga aokutya olwokulabula okwakolebwa […]
Museveni waakusimibwa olw’okulwanirira emirembe.
Bya Ritah Kemigisa. Omukulembeze we gwanga Kaguta Museveni agenda okuweebwa ekirabo ekimusiima olw’okulwanirira emirembe mu Africa yonna nga guno omukolo gwakubaawo mu lukungana olw’emirembe olwa Global Peace Leadership conference olunabeera wano e Munyonyo. Luno olukungana lwakubaawo nga 1st to 2nd August, era nga […]
Palamenti yakuteesa kumusolo gwa mobile money.
Bya Samuel ssebuliba. Olunaku olwaleero parliament lwesuubirwa okukubaganya ebirowozo ku bago lyeteeka erigenda okukola enongosereza mu musolo ogwatekebwa ku Mobile money ne social media. Kinajukirwa nti olukiiko lw’abaminister lwakirizadda nti omusolo ku mobile money gukendeezebwe okuva ku nusu 1% okudda ku 0.5% . Kinajukirwa […]
Polisi egambye Uganda ekyali ntebenkevu.
Bya Ritah Kemigisa. Ssabapolisi we gwanga Martins Okoth akakasizza bannayugada nga egwanga bweriri mu mirembe egitagambika, newankubadde wabadewo abagamba nti Uganda eri mukatyabaga. Kinajukirwa nti wabadewo ebigambo ebisasanyizibwa ku mitimbagano egy’empuliziganya , nga biraga nga banna- uganda bwebalina okwetegerekera embeera embi egenda okulumba uganda. Wabula […]