Amawulire

Twekobe ekitundu ekisooka kitongozeddwa.

Twekobe ekitundu ekisooka kitongozeddwa.

Ivan Ssenabulya

July 24th, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa.

 

 

Ssabasajja kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi olunaku olwaleero akwasiddwa ekitundu ekisooka ekya Twekobe ejjudde ng’ono ateereddwaamu ebintu ebituukaana n’omulembe.

Kinajukirwa nti olubiri lwe Mengo lwalumbibwa mu mwaka 1966 nga 24 May, era ebintu bingi byabbibwa ate ebirala ne byonoonebwa.

Mukwogera Katukiro wa Buganda Owek. Charles Peter Mayiga asiimye olukiiko olukulemedwa  Omukulu GodreyKirumira, nga luno lwelwakulembedemu omulimo ogwokuzimba twekobe ejudde.

Bw’abadde ayogera eri obuganda wano e mengo  omutanda ategeezeza ng’ebbanga bwe libadde eddene nga ttakolera mu Lubiri luno nga kino kikosezza enzirukanya y’emirimu mu Bwakabaka..

Wabula ono ategeezeza nga okulwawo okuzibwa kwa Twekobe bwekyava kubantu basekinoomu abaalina ebigendererwa ebyokulemesa kaweefube ono.

Maasomoogi era ategeezeza nti baakusisina mangu ddala bakole enteekateeka z’okukulakulanya Olubiri luno lusobole okutuukana n’omulembe Omutebi.