Amawulire

Polisi ezeemu okuwenja omubaka Robert Kyagulanyi.

Polisi ezeemu okuwenja omubaka Robert Kyagulanyi.

Ivan Ssenabulya

July 24th, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye.

 

 

 

Police etutegeezeza nga bwesazizaamu akakalu kweyali eyimbulidde omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu , era nga kakano file ye egenda mu kooti.

Kinajukirwa nti ono police yamuggulako omusango ogwokwekalakasa olw’omusolo ogwatekebwa ku social media, era abawerako kubyeli nabo nebakwatibwa, wabula leero police  yeefudde nga egamba nti alemeddwa okweyanjula eri polisi mubuntu nga bwebamulagira.

Munamateeka wa Kyagulanyi , nga ono ye George Musis agamba nti abade egenze ku polisi okubererawo kulwa muntuwe , kyoka polisi neegaana nga egamba nti ono abade alina okubaawo mubuntu

Musisi  agamba nti kyagulanyi  abadde tayinza kubaawo mu buntu kubanga emotokaye yafunye emitawaana  nga ava e Nebbi.