Amawulire
Eyasobya ku mwana akaligiddwa
Bya Ruth Anderah. Omusajja ow’e myaka 22 agambibwa okwekakatika ku mwana wa mwanyina asimbiddwa mu kkooti enkulu mu Kampala. Avunanibwa ye Sendagire Anthony , nga ono asomeddwa omusango mu maaso g’omulamuzi Jane Francis Abodo wabula n’agwegaana. Kati omulamuzi atadewo olunaku lwa August 9th guno omwaka […]
KCCA etandise okuyiga abanywa sigala mu lujuddde.
Bya Damali Mukhaye. Ekitongole ekya KCCA kirangiridde nga bwekiweze enkola ey’okunywera sigala mulujudde, nga ono ye kaweefube ow’okuteeka munkola eteeka lya sigala elya Tobacco control act 2015. Bwabadde atongoza kaweefube ono, director akola by’obulamu mu Kampala Daniel Okello agambye nti mu Kampala abantu ebitundu 30% […]
Abaserikale ababade mu somali baakudda kubutaka.
Bya samuel ssebuliba. Mu Somalia waliwo abaserikale ba police 160 abakolera wansi wa African Union abagenda okunyuka egwanga lino oluvanyuma lw’okumala omwaka mulamba nga bali mu gwanga lino. Bano beebamu ku baserikale abali mu gwanga lino nga batendeka banansi ba Somalia kungeri ey’okukuumamu emirembe . […]
Gavumenti y’eleese ebeeyi y’emere okuggwa.
Bya Samuel Ssebuliba. Government etereddwa kuninga olw’okulemwa okukuuma ebeeyi y’emere, okukakana nga emere ey’empeka kaakano egwiridde dala ebeeyi. Mukaseera kano kilo ya kasooli mu bitundu ebimu etambulira wakati wa Shs100-200 ekiviirideko abalimi okulaajana. Kati twogedeko n’akulira ekibiina ekya Food Rights Alliance Agnes Kirabo naagamba nti […]
Banamajje abawumudde basabiddwa okukuuma obutebenkevu.
Bya Ben Jumbe. Omuduumizi w’amajje ge gwanga Gen David Muhoozi akalaatidde banamajje abaawumudde nti bagwana babeere basaale mu kwongera okukuuma obutebenkevu bw’eggwanga. Gen David Muhoozi okwogera bino abadde wano Bombo nga ayogerera kumukolo ogw’okuwumuzza banamajje 460. Obubaka bwa Gen Muhoozi bwasomeddwa akulira amajje g’okuta Gen […]
Omutanda ayagala abuganda butandike okulima emwanyi.
Bya samuel ssebuliba. Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi akalaatidde abavubuka mu Buganda okujumbira okulima emwanyi, kino kibayambe okwejja mu bwavu nakaakano obukyabayimbya endubaale. Buno bwebumu kubwabadde obubaka bwa Ssabasajja eri obuganda olunaku olw’eggulo nga Obuganda bujaguza nga bwegiweze emyaka 25 nga ssabasajja ali […]
Ababaka batandise okwekennenya ebbago ku musolo
Bya Moses Kyeyune Abamu ku babaka ba palamenti ku kakiiko kebyensimbi, balaze obweralikirivu ku tteeka alyomusolo gavumenti lyeyagala okukolamu ennongosereza, mweyagalira omusolo gwe 0.5% gujibwe ku nsimbi ezisindikibwa aku mobile money. Ababaka okubadde owe Katerera Hatwib Katoto, Mariam Naigaga owe Namutumba ne Elias Asiku owe […]
Palamenti eremererddwa okuyimiriza gavumenti ku airtime
Bya Moses Kyeyune Palament akawungeezi ka leero eremereddwa okuyimiriza ekiragiro kya gavumenti nebitongole byempiliziganya, okujjawo mu air time caad obwokutakula. Akakiiko kebyempuliziganya mu gwanga aka Uganda Communications Commission kalangirirwa ssalessale owmwezi gwomusanvu, okuba nga bajjeewo mu caada buno. Akakwungeezi ka leero minister webyempilizganya nebyuma bi […]
Kabaka we Ashante ajjukizza abaddugavu ku nonno
Bya Sam Ssebuliba Amawanga ga Africa gasabiddwa, okudda ku nonno nebyobuwangwa byabwe bwebanaaba bakukula nokugenda mu maaso. Buno bwebubadde obubaka bwa Kabaka we Ashanti King Asantehene Osei Tutu II. Asinsidde ku mattikira ga Ssabasajja gano, nagamba nti bangi basuddewo ennono nebyobuwangwa bwabwe, songa omwo mwemuli emirandra. […]
Kabaka agamba nti omululu gwegulemesezza enkulakulana
Bya Shamim Nateebwa ne Sam Ssebuliba Empologoma ya Buganda Ssabasajja Kabaka agugumbudde, abali benguzi, ngagambye nti yensibuko yobwavu nenkulakulana netatukikako mu nsi. Omutanda okuvumirira enguzi kyekibutikidde obubaka bwe ku mattikira ge aga 25th, wali mu Lubiri. Omutanda era ajjukizza abazadde nabakulu mu gavumenti nti buvunnyizibwa […]