Amawulire

Kabaka agamba nti omululu gwegulemesezza enkulakulana

Kabaka agamba nti omululu gwegulemesezza enkulakulana

Ivan Ssenabulya

July 31st, 2018

No comments

Bya Shamim Nateebwa ne Sam Ssebuliba

Empologoma ya Buganda Ssabasajja Kabaka agugumbudde, abali benguzi, ngagambye nti yensibuko yobwavu nenkulakulana netatukikako mu nsi.

Omutanda okuvumirira enguzi kyekibutikidde obubaka bwe ku mattikira ge aga 25th, wali mu Lubiri.

Omutanda era ajjukizza abazadde nabakulu mu gavumenti nti buvunnyizibwa bwabwe okulwanayisa ebkolwa ngebyo.

Wabula era mwenyamivu olwe bbula lyemirimu mu bavubuka, songa abagga bagagga nnyo ate nabaavu baavu nnyo.

Ku nsonga eno, akaubye banatu be akaama okwekolamu ebibiina okwekulakulanya.

Ate Kamalabyonna wa Buganda CPM ayongedde okuwera mu maaso ga Beene, nokulaga amaanyi gobwakabaka.

Kattikiro agambye nti Obwakaba ssi musono, wabula kiva amu musaayi era byabuwangwa nan ono.

Alagudde nti anagezaako okwenganga Obuganda naye taliberaawo mu Uganda.

Owembuga agambye nti enkulakulana yamanyi etukiddwako mu bbanga lino eryemyaka 25 nga Ssabasajja atudde ku Namulondo.