Amawulire

KCCA etandise okuyiga abanywa sigala mu lujuddde.

KCCA etandise okuyiga abanywa sigala mu lujuddde.

Ivan Ssenabulya

August 1st, 2018

No comments

Bya Damali Mukhaye.

Ekitongole ekya KCCA kirangiridde nga bwekiweze enkola ey’okunywera sigala mulujudde, nga ono ye kaweefube ow’okuteeka munkola eteeka lya sigala elya Tobacco control act 2015.

Bwabadde atongoza  kaweefube ono, director akola by’obulamu mu Kampala Daniel Okello agambye nti mu Kampala abantu  ebitundu 30% bafa bulwadde obwekuusa ku kukozesa taaba.

Ono agambye nti wano webasinzidde okuwera  okunywa sigala mu bitundu nga enguudo, amabaala, ebifo omuliirwa emere nebirara byonna omubeera abantu abangi.

Kati  ono agambye nti bamaze okusindika basajja baabwe okulawuna ekibuga, era buli anaakwatibwa wakutwalibwa ayinza okusibwa  emyezi 6 oba okuwa engassi ya mitwalo 200,000.