Amawulire

Eyasobya ku mwana akaligiddwa

Eyasobya ku mwana akaligiddwa

Ivan Ssenabulya

August 1st, 2018

No comments

 Bya Ruth Anderah.

Omusajja ow’e myaka  22  agambibwa okwekakatika  ku mwana  wa  mwanyina  asimbiddwa  mu  kkooti  enkulu  mu  Kampala.

Avunanibwa ye Sendagire Anthony  , nga ono asomeddwa  omusango  mu  maaso  g’omulamuzi Jane Francis Abodo wabula n’agwegaana.

Kati omulamuzi atadewo olunaku  lwa  August 9th guno  omwaka  atandike  okuwulira obujulizi  bw’oludda  oluwaabi.

Kigambibwa nti Sendagire  omwana  wamukulu  we  yamusobyako wakati  w’omwaka gwa 2013 ne August 2014 e Banda B Zone.

Omwana agambibwa okusobezebwako yali wa myaka 11 era nga Sendagire yali amufudde mukaziwe buli mwanyina lwataberangawo.