Amawulire

Kabaka we Ashante ajjukizza abaddugavu ku nonno

Kabaka we Ashante ajjukizza abaddugavu ku nonno

Ivan Ssenabulya

July 31st, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Amawanga ga Africa gasabiddwa, okudda ku nonno nebyobuwangwa byabwe bwebanaaba bakukula nokugenda mu maaso.

Buno bwebubadde obubaka bwa Kabaka we Ashanti King Asantehene Osei Tutu II.

Asinsidde ku mattikira ga Ssabasajja gano, nagamba nti bangi basuddewo ennono nebyobuwangwa bwabwe, songa omwo mwemuli emirandra.

Anokoddeyo amawanga nga China ne Japan gagamba nti gasajjkudde mu byenfuna olwe nono zaabwe zebakuumye.