Amawulire
Palamenti eremererddwa okuyimiriza gavumenti ku airtime
Bya Moses Kyeyune
Palament akawungeezi ka leero eremereddwa okuyimiriza ekiragiro kya gavumenti nebitongole byempiliziganya, okujjawo mu air time caad obwokutakula.
Akakiiko kebyempuliziganya mu gwanga aka Uganda Communications Commission kalangirirwa ssalessale owmwezi gwomusanvu, okuba nga bajjeewo mu caada buno.
Akakwungeezi ka leero minister webyempilizganya nebyuma bi kalimagezi Frank Tumwebaze, asitaanye nababaka ababadde basaba nti ekiragiro kino kijira kiyimirira.
Wabula minister agambye nti nga palamenti mpaawo kyebayinza kukola kuyimiriza ekiragiro kino.
Speaker wa palamenti Rebecca Kadaga akanyizza ne minisita.
Omubaka Busiki Paul Akamba, kinajjukirwa nti wiiki ewedde yaleeta okwemulugunya, nti abantu bangi abolekedde okukosebwa.