Amawulire
Pulezident asisinkanye bamusiga nsimbi okuva mu china.
Bya samuel ssebuliba. Omukulembeze we gwanga YKM akalaatidde bamusiga nsimbi okutandika okumulopera abakungu ba government bonna abakyalemedde ku ky’okubasaba ensimbi mungeri ey’ekyoja mimiro. Ono okwogera abade wano ku Hotel Africa bwabadde aggulawo olukungana tabamiruka olwaba-china bamusigansimbi abali mu gwanga. President agambye akimanyiiko nti bano bayita […]
Col Dr Besigye ayagala Bobi wine ayimbulwe mu bwangu.
Bya Ritah Kemigisa. Eyaliko omukulembeze w’ekibiina kya FDC Dr Col.Kizza Besigye akaladde n’alagira government okwanguwa okuyimbula omubaka we Kyadondo East MP Robert Kyagulanyi wamu nebanne kubanga byebabavunaana tebikola makulu. Bwabadde ayogerako ne banamawulire Besigye agambye nti bano baakwatibwa nebayisibwa nga eby’okutale, kale nga kino kikyamu […]
Omubaka Robert Kyagulanyi avunaaniddwa gwakusangibwa na mundu.
Bya Samuel ssebuliba Amawulire getwakafuna galaga nga omubaka we Kyadondo East Robert Kyagulanyi bwalabiseeko mu kooti y’amajje e Gulu navunanibwa emisango egy’okusangibwa n’emundu mu bukyamu. Okuva kumakya nga banamateeka ba Kyagulanyi obwedda bali ku kooti nga balinze muntu waabwe, kyoka olw’eggulo lwa leero ono naye […]
Ababaka babagaanye okulaba omubaka Kyagulanyi
Bya Ivan Ssenabulya ne Ritah Kemigisa Banamateeka bomubaka wa Kyodondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu bagamba nti nokutuusa kati tebanabalaga wa awali omuntu waabwe. Bwabadde aayogerako ne banamawulire mu kafubo kebabaddemu, nabakulu ku nkambi yamagye e Gulu, omu ku banamateeka Asuman Bsaslirwa agambye nti era wandibaawo […]
Owa woteeri awakanyizza ebyo’kusangibwa ne mmundu
Bya Ritah Kemigisa, Damalie Mukhaye ne Ivan Ssenabulya Nannyini Pacific Hotel mu kibuga kye Arua omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu gyeyakwatibwa awakanyizza ebyogerwa, nti omubaka ono yasangibwa ne mmundu. Omumyuka wa Ssabaminista we gwanga asooka General Moses Ali yategezezza palamenti nti omubaka Kyagulanyi […]
Banamateeka bo’mubaka Kyagulanyi bataka e Gulu
Bya Sam Ssebuliba Banamateeka bomubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi kati bataka e Gulu gyebagenze okumanya ebikwata ku mubaka ono na biki ebimuvunanwa. Omumuyuka wa ssabaminista we gwanga, Gen Moses Ali omubaka Kyagulanyi yasangiddwa ne mmundu, ngagenda kuvunanwa mu kooti yamagye. Bwabadde ayogerako naffe, munnamateeka […]
Kasiano Wadri awangudde akululu ng’ali mu kkomera
Bya Benjamin Jumbe Eyaliko omubaka we Terego mu palamenti era eyavuganyizza kubwanamunigina mu kulonda kwa munispaali ye Arua Kassiano Wadri nate alondeddwa okudda mu palamenti. Wadri nga mu kaseera kano ali mu kkomera alangiriddwa ku buwanguzi, bwamezze banne 11 bwebavuganyizza ku bululu 6,421 naddirirwa owa […]
Ababade bakumpanya etaka basatu bakwatiddwa.
Bya Ruth Anderah. Akakiiko akakola ku by’okunonyereza ku mivuyo gy’ebyetaka tutegeezeddwa nga bwekakutte abantu basatu abagambibwa okwetaba mukusengula abantu 3000 wano e mubende. Abakwatidwa kuliko Milly Naava Namutebi eyali akulira esomero elya Nakasero primary school, Blasio Musoke Lule ne Henry Kaaya. Bano okukwatibwa kidiridde omuwaabi […]
Ababaka ba palamenti bagenda kulambula ku banaabwe.
Bya Samuel ssebuliba. Parliament esazeewo okubaako ekibinja ky’ababaka kyesindika e Gulu okugenda okwetegereza embeera yababaka abaakwatidwa gyebalimu. kino ekiteso kireteddwa Nampala wa government Ruth Nankabirwa nga on agambye nti okusinziira ku mbeera eriwo walondebweyo abantu 6 bagenda balondoole ebifa kubabaka bano. Abalondeddwa kuliko Allan Ssewanyana, […]
Government egamba nti ababaka bali mu mbeera nungi.
Bya Ssamuel ssebuliba. Government evudeyo n’esambajja ebibadde bigambibwa nti ababaka ba Parliament abaakwatiddwa mubitundu bye Arua baatulugunyiziddwa ebitagambika, era nga bangi bali mumbeera mbi . Bino bibadde mukiwandiiko ekisomeddwa amyuka ssabaminister Gen Moses Ali, bwabadde ategeeza parliament ababaka bano gyebaali, nga kwogase n’ebibakwatako. Kati mukunyonyola […]