Amawulire

Banamateeka bo’mubaka Kyagulanyi bataka e Gulu

Banamateeka bo’mubaka Kyagulanyi bataka e Gulu

Ivan Ssenabulya

August 16th, 2018

No comments

Bya Sam Ssebuliba

Banamateeka bomubaka wa Kyadondo East, Robert Kyagulanyi kati bataka e Gulu gyebagenze okumanya ebikwata ku mubaka ono na biki ebimuvunanwa.

Omumuyuka wa ssabaminista we gwanga, Gen Moses Ali omubaka Kyagulanyi yasangiddwa ne mmundu, ngagenda kuvunanwa mu kooti yamagye.

Bwabadde ayogerako naffe, munnamateeka Asuman Bsalirwa, nga ye mubaka wa munispaali ye Bugiri agambye nti mu mbeera yonna bagenda kuyimirira nomubaka munaabwe.

Ate obuwanguzi bwa Kassiano Wadri abatunulizi, babutadde ku mugoba womubaka Kyagulanyi, Yasin Kawuma eyatiddwa.

Eyali omubaka mu palamenti Alice Alaso, era omu ku banonyeerezza Wadri akululu yayogedde bwati.

Alaso wabula agambye nti omusajja ono bambi yafiridde bwemage, nga bkumutwalanga omuzira mu kununula egwanga.

Kino era agambye nti kiraga engeri bana-Uganda nabantu be Arua gyebabadde bamairiddemu, wakaati mu bingi ebyabaddewo nokusomozebwa.

Kawuma yakubwa amasasi ku Bbalaza mu kufundikira campaign.