Amawulire

Owa woteeri awakanyizza ebyo’kusangibwa ne mmundu

Owa woteeri awakanyizza ebyo’kusangibwa ne mmundu

Ivan Ssenabulya

August 16th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa, Damalie Mukhaye ne Ivan Ssenabulya

Nannyini Pacific Hotel mu kibuga kye Arua omubaka wa Kyadondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu gyeyakwatibwa awakanyizza ebyogerwa, nti omubaka ono yasangibwa ne mmundu.

Omumyuka wa Ssabaminista we gwanga asooka General Moses Ali yategezezza palamenti nti omubaka Kyagulanyi yasangibwa ne mmundu, ngagenda kutalibwa mu kooti yamagye e Gulu olwaleero.

Wabula amawulire agavaayo, okusinziira ku muanamwulire wa Daily Monitor Franklin Draku mu mboozi eyakafubo ne Candia Luiji, nannyini woteeri eno agambye nti customa waabwe, bamukebera bulungi, ngagyingira era teyalina mmundu.

Candia agamba nti kyandiba ngabakuuma ddembe, babba ebintu byomubaka Kyagulanyi okwali ne laptop ebibarieirwamu ensimbi bukadde na bukadde.

Ono era agamba nti wakutuusa okwemulugunya kwe mu buwandiike eri abobuyinza.

Yyo poliisi mu kaseera kano, munamwulire atubuliidde nti omubaka Kyagulanyi bamuguddeko omusango gwokwonoona ebintu mu bugenderevu nokulya mu nsi olukwe, ku bigambibwa nti baakuba mmotoka yomukulembeze we gwanga.

Olunnaku olwe ggulo poliisi era yalaze ebintu ebigambibwa nti byebyasangibwa nomubaka.

Ate omubaka wa Kyadondo East, Robert Kaygulanyi tanaba kuletebwa mu kooti yamagye e Gulu gyasubirwa.

Okusinziira ku mubaka wa Makindye West Allan Ssewanyana, nga yoomu ku babaka ba palamenti 6 ku kakaiiko akatereddwawo okugenda okulaba ebikwata ku mubaka ono, batuuse dda nga balabye ku mubaka we Ntungamo Gerald Karuhanga, owa Jinja East Paul Mwiru, Kassiano Wadri eyakalondebwa nabalala amakumi 30 bwebakwatibwa naye omubaka Kyagulanyi taliiko.

Omubaka Kyagulanyi nomubaka we Mityana Francis Zaake agamba tebanalabwako, nga bandiba nga bali mu mbeera mbi.

Ate okulondwbwa kwa Kasiano Wadri kulaga obumalirivu, bwabantu okuletawo enkyukakyuka.

Lord Mayor wa Kampala Erias Lukwago, bwabadde ayogera ku kulonda kwe Arua Okwafundikiddwa, agambye nti wadde abantu gwebagala yabadde mu kkomera tekyabalobedde kumulonda.

Wadri yalangiriddwa ku buwnaguzi ngomubaka wa munispaali ye Arua omugya, okuddira Abiriga mu bigere, ku bululu 6,421 ngaddiriddwa owa NRM Nusura Tiperu eyafunye obululu 4,798.

Ate gavumenti eyanukudde eri family yomubaka wa Kyandondo East Robert Kyagulanyi ababanja omuntu waabwe.

Aba family yomubaka bawadde gavumenti essaawa 48 zokka, okuleeta omuntu waabwe oba okumutwala mu kooti.

Bwabadde ayogerako naffe, omwogezi wa gavumenti Ofwono Opondo agambye nti bano batekeddwa okuyita mu mitendera gyamateeka, ssi kwogera bwogezi.

Agamba nti gavumenti terina ngeri gyeyinza kubayambamu nga bogera bwogezi.

Omubaka Kyagulanyi yakwatibwa nababaka abalala Francis Zaake, Gerald Karuhanga, Paul Mwiru ne Mike Mabike saako Kasiano Wadri, campaign ze Arua bwezabadde zifundikirwa.