Amawulire

Kasiano Wadri awangudde akululu ng’ali mu kkomera

Kasiano Wadri awangudde akululu ng’ali mu kkomera

Ivan Ssenabulya

August 16th, 2018

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Eyaliko omubaka we Terego mu palamenti era eyavuganyizza kubwanamunigina mu kulonda kwa munispaali ye Arua Kassiano Wadri nate alondeddwa okudda mu palamenti.

Wadri nga mu kaseera kano ali mu kkomera alangiriddwa ku buwanguzi, bwamezze banne 11 bwebavuganyizza ku bululu 6,421 naddirirwa owa NRM Nusura Tiperu eyafunye obululu 4,798.

Owa FDC Bruce Musema amalidde mu kyakusattu nobululu 1,369.

Akulira ebyokulonda mu Arua Ruth Angom, yalangairidde ebivudde mu kulonda.

Kati bwabadde ayogerko ne banamwulire amangu ddala, nga Wadri yakalangirirwa, Samuel Lubega Makaku omu ku bakulembeddemu campaign za Wadri, agambye nti essanyu balina lyamanyi.

Wadri kati yazze mu bigera byeyali omubaka wekitundu kino, Ibrahim Abiriga eyatemulwa mu June womwaka guno.

Ate omubaka wa Kyaddondo East mu palamenti Robert Kyagulanyi Ssentamu amanyiddwa nga Bobi Wine olwaleero asubirwa okusimbibwa mu kooti yamagye e Gulu.

Omumyuka wa ssabaminista we gwanga General Moses Ali yategezezza palamenti akawungeezi akayise nti ono yasangibwa nr mmundu nebyokulwanyisa ebiralala mu bukyamu.

Omubaka Kyagulanyi yoomu ku bakwatibwa, mu kulwanagana okwali mu Arua, campaign bwezaali zifundikirwa.

Mungeri yeemu palamenti yataddewo akakiiko kabababka mu 6 okwolekera Gulu okulaba ebikwata ku mubaka Kyagulanyi.

Wano spiika wa palamenti Rebacca Kadaga, alonze omumyuka wa ssentebbe wakakiiko ka palamenti akensonga zomunda mu gwanga Doreen Amule.

Bbo ababaka abalala bwebakwatibwa ne Kyagulanyi, kitegezeddwa nti bagenda kuvunanibwa mu kooti eza bulijjo.