Amawulire

Ababaka babagaanye okulaba omubaka Kyagulanyi

Ababaka babagaanye okulaba omubaka Kyagulanyi

Ivan Ssenabulya

August 16th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya ne Ritah Kemigisa

Banamateeka bomubaka wa Kyodondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu bagamba nti nokutuusa kati tebanabalaga wa awali omuntu waabwe.

Bwabadde aayogerako ne banamawulire mu kafubo kebabaddemu, nabakulu ku nkambi yamagye e Gulu, omu ku banamateeka Asuman Bsaslirwa agambye nti era wandibaawo okubazannya gyangu onkwekule.

Bano ababtegeezza nti kooti egenda kutuula esaawa yonna, atenga omubaka bategezeza nti yatwaliddwa mu Arua afuna bujanjabi, nga kitegeeza nti ali mu mbeera mbi.

gavumenti olunnaku olwe ggulo yasubizza nti omubaka ono agenda kuvunanwa mu kooti yamagye e Gulu olwaleero.

Ate bbo abantu abalala abakwatibwa okuli nababaka batwaliddwa mu kooti ento e Gulu gyebagenda okusomerwa emisango ejitali jimu.

Ate bbo abaoludda oluvuganya gavumenti bavamiridde ekyababaka abalondeddwa palamenti, okubagaana okulaba omubaka Kyagulanyi.

Eyali akulira oludda oluvuganya gavumenti mu palamenti Winnie Kiiza ngali Gulu agambye nti kuno kuyisa lugaayu mu biragiro bya palamenti.

Ababaka 6 bebalondeddwa, nga bakulembeddwamu omumyuka wakulira akakiiko kensonga zomunda mu gwanga era omubaka omukyala owe Amolator Doreen Amule wabulanga balabye abantu abalala abakwatiddwa, naye omubaka Kyagulanyi ne Francis Zaake owa munispaali eye Mityana tebanalabwako.

Abantu abasoba mu 30 bebakwatiddwa okuli nababaka Gerald Karuhanga, Paul Mwiru, Mike Mabike, Kasiano Wadri eyakalondebwa nabalala.

Ate eyali omuddumizi wamagye ge gwanga, Mej Gen Mugisha Muntu, ayamblidde gavumenti kungeri gyekunganyamu obujulizi, ku betebereza okuzza emisango.

Ono eyali presidenti wekibiina kya FDC, ategezeza banamwulire e Gulu, nti kuno kwabadde kubangirira bujulizi ku mubaka Kyagulanyi.

Ono akubye ebituli mu kyakoleddwa, abakuuma ddembe okuyingira mu woteeri, nga tebalina kiwandiiko ekibakiriza okwaza awatabadde na bajulizi.

Agamba kati kizibu egwanga okukriza obujulizi bwa gavumenti mu bintu nga bino.

Wabula olunnaku lwe ggulo, Omumyuka wa ssabaminista we gwanga asooka Gen Moses Ali yategezezza palamenti omubaka Kyagulanyi yasangibwa ne mmundu nebissi ebiralala.