Amawulire

Ekizimbe kya Church House Kitongozeddwa.

Ekizimbe kya Church House Kitongozeddwa.

Ivan Ssenabulya

August 24th, 2018

No comments

Bya ben Jumbe. Olunaku olwaleero ekiziimbe ky’e kanisa ya Uganda ekya Church house kitongozeddwa, nga kino kituumiddwa ST Janani Luwum Church house. Ssabaminister we gwanga Dr Ruhakana Rugunda, nga yabadewo okukiikirira  omukulembeze we gwanga yeebaziza e kanisa ya Uganda olw’okulwana okulaba nga ekizimbe kino kiggwa. […]

Amyuka sipiika akyalidde ababaka abaggalirwa e Gulu.

Amyuka sipiika akyalidde ababaka abaggalirwa e Gulu.

Ivan Ssenabulya

August 24th, 2018

No comments

Ben Jumbe.  Amyuka sipiikawa  Parliament Jacob Oulanya  akyalireko ababaka ba parliament abaggalirwa mu komera elya Gulu central prison. Kinajukirwa nti bano bebaakwatibwa mu kavuyo akaakulembera okulonda kwe Arua Municipality, nga kuno kwawangulwa Casiano Eziat Wadri , kyoka nga naye kakano musibe. Abagalirwa kuliko Paul Mwiru, […]

Eby’okutulugunya abantu ssabawaabi w’emisango tabimanyiiko.

Eby’okutulugunya abantu ssabawaabi w’emisango tabimanyiiko.

Ivan Ssenabulya

August 24th, 2018

No comments

Bya samuel ssebuliba. Ssabawaabi wa government avudeyo nasambajja ebigambibwa nti yaavunayizibwa kukutwalibwa kw’abantu mu kooti nga bajjudde ebiwundu. Ono okuvaayo kidiridde abalwanirizi b’edembe ly’obuntu  okumwambalira nadala oluvanyuma lw’okutwala Robert Kyagulanyi mu kooti nga ali mu bulumi obutagambika olw’ebiwundu ebyamutuusibwako nga akwatibwa. Twogedeko ne DPP Mike […]

Ekirwadde kya Crimean-Congo kituuse mu kampala.

Ekirwadde kya Crimean-Congo kituuse mu kampala.

Ivan Ssenabulya

August 24th, 2018

No comments

Bya Samuel Ssebuliba. Ministry ekola ku nsonga z’ebyobulamu etegeezeza nga bwewaliwo omuntu afiiride wano ku dwaliro e Naguru, oluvanyuma lw’okukwatibwa ekirwadde ekya Crimean-Congo hemorrhagic fever. Emmanuel Ainebyona , nga ono yakola ku by’amawulire mu ministry eno agambye nti ono abadde mutuuze we Kireka, wabula nga […]

Gen Kayihura agudwako emisango, azzidwayo ku Alimanda.

Gen Kayihura agudwako emisango, azzidwayo ku Alimanda.

Ivan Ssenabulya

August 24th, 2018

No comments

Bya Ruth Anderah. Eyali omuddumizi wa poliisi mu gwanga Gen Kale Kayihura kyadaaki asimbiddwa mu kooti yamagye e Makindye naggulwako emisango egy’enjawulo. Ono atuuse mu kooti nga enekanekanya mu byamabalo by’ekinamajje ,bwatyo ssentebbe wa kooti eno Lt Gen Andrew Gutti naamusomera emisango okuli okulemererwa okukuuma […]

Kayihura alindiriddwa mu kooti

Kayihura alindiriddwa mu kooti

Ivan Ssenabulya

August 24th, 2018

No comments

Bya Benjamin Jumbe Eyali omuddumizi wa poliisi mu gwanga Gen Kale Kayihura atusiddwa mu kooti yamagye e Makindye. Bbo abantu abajjwulo beyiye ku kooti eno, okulaba misango ki ejigenda okuvunanwa munamagye ono. Mukyala wa Kayihura Angella Kayihura nabavubuka okuva e Kisoro balabiddwako nga benanise ku […]

Omuwagizi wa Bobi Wine akubiddwa amasasi nebamutta

Omuwagizi wa Bobi Wine akubiddwa amasasi nebamutta

Ivan Ssenabulya

August 24th, 2018

No comments

Bya Sadat Mbogo Police mu district y’e Gomba eriko omuntu gwekubye amasasi n’afirawo nga kizzeewo police bwebadde egobagana n’ekibinja kya bodaboda ababadde beekalakaasa mu kiro ekikeesezza olwaleero. Bino byonna bibadde ku kyalo Bukalagi ngomwogezi wa police mu bitundu bya Katonga Joseph Musana akakasizza bino natubuulira […]

Amagye gegyerezza Bobi wine

Amagye gegyerezza Bobi wine

Ivan Ssenabulya

August 23rd, 2018

No comments

Bya ben Jumbe , Ruth Anderah. Kyadaaki omubaka we kyadondo East Robert Kyagulanyi alabiseeko mu kooti ento etuula e Gulu naggulwako emisango egyokulya munsi olukwe, era naggalirwa ku alimanda okutuusa nga 30th sabiiti egya ku lwokuna. Bwabadde amusomera omusango guno omulamuzi owedaala erisooka Yunusu Ndiwalana […]

Poliisi ezinzeeko amaka ga’boludda oluvuganya gavumenti

Poliisi ezinzeeko amaka ga’boludda oluvuganya gavumenti

Ivan Ssenabulya

August 23rd, 2018

No comments

Bya Ben Jumbe . Abaserikale abaabuli kika basazeeko amaka g’abantu ab’enjawulo okuli Lord Mayor wa Kampala Ssalongo Erias Lukwago, ayali akulira FDC Dr Col kiiza Besigye, Ingrid Tulinawe , munamateeka Medrd Lubega Sseggona n’abalala. Kinajukirwa nti bano bebamu kubabade balina okugenda e Gulu okubaawo nga […]

Banamateeka e Kenya bakwekalakaasa olwa Bobi Wine

Banamateeka e Kenya bakwekalakaasa olwa Bobi Wine

Ivan Ssenabulya

August 23rd, 2018

No comments

Bya samuel Ssebuliba. Mu Kenya banamateea abeegattira mu kibiina ekya law society of Kenya  bakungaanide   wali ku freedom corner, nga wano webagenda okuva okutambula nga boolekera ekitebe ky’omubaka wa Uganda atuula mu Kenya ababuulire ekikwasa Kyagulanyi. Charles Kanjama nga ono ye ssentebe w’ekibiina kino agamba […]