Amawulire

Palamenti eremedde ku bye South Sudan

Ali Mivule

January 16th, 2014

No comments

Akakiiko ka palamenti akakola ku nsonga z’ebyokwerinda kalagidde gavumenti okulaga endagaano gyeyakola n’eggwanga lya South Sudan ku ky’okusindikayo abajaasi Kino bakituseeko bwebabadde bakubaganya ebirowoozo ku ndagaano eno Ababaka abatuula ku kakiiko kano bagamba nti beetaga okumanya byonna nga bwebiri, ensimbi ziva wa, era nga ani […]

Babiri babbidde

Ali Mivule

January 15th, 2014

No comments

Poliisi nakati ekyagenda mu maaso n’okuwenja emirambo gy’abantu 2 abaagude mu nyanja Wamala akawungeezi ka jjo. Omwogezi wa poliisi mu masekkati ga Buganda Philip Mukasa agambye nti abagudde mu Nyanja bategerekese nga Richard Lutaaya ne Isaac Katongole Ono agamba nti polisi ekyagenda mu maaso okunoonyereza […]

Omubaka Kasibante Moses asuze mu kkomera .

Ali Mivule

January 15th, 2014

No comments

Omubaka wa Rubaga North Moses Kasibante olwaleero asuze Luzira Ono asindikidwa ku alimanda e Luzira okutuuka ku lw’okutaana olwa wiiki eno. Omulamuzi w’eddala erisooka mu kooti ya Mwanga II Susan Abinyo y’asindise Kasibante ku musango ogw’okuzimuula ebiragiro bwa Kkooti. Omulamuzi agambye nti ddembe lya Kasibante […]

Abatuuze beekalakaasizza lwa nfuufu.

Ali Mivule

January 15th, 2014

No comments

  Abatuuze ababeera ku luguudo lwe kiwologoma nga luno lw’eluva e Kira okudda e Kasangati bavudde mu mbeera ne beekalakaasa nga ssi kirala wabula nfuufu Oluguudo olwogerwaako lukolebwaako kyokka nga teruyibwaako mazzi. Akulira poliisi mu divizoni ye Kira, Robert Nkulega agamba nti batuuse mangu mu […]

Ebye Kasokoso tebinaggwa

Ali Mivule

January 15th, 2014

No comments

  Okukubaganya ebirowoozo ku nsonga z’ettaka lye Kasokoso mu kakiiko ka palamenti  akakola ku by’ettaka n’okuzimba kugudde butaka. Kino kiddiridde okubalukawo obutakkaanya mu kakiiko kano, oluvanyuma lw’abamu ku bakiise okuyita abatuuze  mu Acholi Quarters nabo okulabikako mu kakiiko kano. Wabula oluvanyuma basazeewo nti buli zooni […]

Sipiika akwasiddwa omumuli .

Ali Mivule

January 15th, 2014

No comments

  Omumuli gw’emizanyo egyetabwaamu amawanga agali mu luse olumu ne Bungereza gukwasiddwa sipiika  wa palamenti  Rebecca Kadaga akawungezi ka leero. Omumuli guno gumukwasiddwa abakulira akakiiko akakola ku nsonga z’amawanga gano mu Uganda, omudusi Dorcus Inzikuru, awamu ne minisita w’emizanyo Jessica Alupo. Kadaga wano w’asinzidde n’ategeeza […]

Ebibiina by’obufuzi birabuddwa.

Ali Mivule

January 15th, 2014

No comments

  Gavumenti erabudde ebibiina ebigivuganya okuvaayo n’engeri ez’enjawulo ez’okukuza demokulasiya  mu kifo ky’okuwakanya obuwakanya. Omwogezi wa gavumenti, Ofwono Opondo bino y’abyogedde bw’abadde awa endowooza ze ku alipoota efulumiziddwa ku bibiina by’obufuzi Alipoota eno eraze nti ebibiina bingi biweddemu ensa.

Lukwago alemeseddwa

Ali Mivule

January 14th, 2014

No comments

Loodimeeya wa kampala, Ssalongo Erias Lukwago yemunyuludde n’asazaamu enteekateeka z’okudda mu ofiisi ze olwaleero Loodimeeya yaaweze nga bwadda mu ofiisi ye leero kyokka anga tekisobose olw apoliisi eyamukeddde ng’emisa nga talina na w’abadde yekyusizaa Ono agambye nti ababaka ba palamentia basingaa b’abadde alina kutambula nabo […]

Gavumenti ewagiddwa ku South sudan

Ali Mivule

January 14th, 2014

No comments

Ababaka ba palamenti awatali kwetamamu bawagidde eky’amaggye ga Uganda okubeera mu ggwanga lya South Sudan Bangi wabula ku bano balaze obutali bumativu olw’engeri gavumenti gy’ekolamu  bintu byaaaayo ey’okusaba g’etoola Ababaka bano kubaaddeko Prof Gilbert Bukenya, Medard Segona, Reagan Okumu, Odo Tayebwa ,Kaps Hassan Fungaroo ne […]

South Sudan yetaaga obuyambi bwa Uganda.

Ali Mivule

January 14th, 2014

No comments

Ababaka ba palamenti basabiddwa okuwagira enteekateeka z’amaggye ga gavumenti okubeera mu ggwanga lya South Sudan. Bw’abadde alabiseeko maaso ga babaka ba palamenti , minista w’ebyokwerinda Crispus Kiyonga ategezezza nga gavumenti bw’eteetumikiriza kutwala maggye mu south sudan wabula waliwo ensonga. Agamba anaggye gayamba mu  kujja bannayuganda […]