Amawulire

Babiri basiibuddwa

Ali Mivule

January 13th, 2014

No comments

Babiri ku bantu abaagudde ku kabenje ddekabusa e Wakaliga basiibuddwa. Bano beebamu ku omunaana abaddusiddwa mu ddwaliro nga biwala taka mu kabenje akaatuze omusanvu   n’abalala nebabuuka n’ebisago ebyamanyi. Omwogezi w’eddwaliro  ekkulu ery’emulago  Enock Kusasira agamba abakoseddwa bagenda bakuba ku matu. Akabenje kano kabaddemu emmotoka […]

Ababundabunda 3,000 bayingidde uganda.

Ali Mivule

January 12th, 2014

No comments

.   Ekibiina  ekidduukirize ekya Red Cross kitegeezezza nga ababundabunda abasoba mu 3,000 bwebasaze ensalo okuva mu South Sudan nebayingira mu Uganda. Bano okuyingira bayisse mu district ye Adjuman . Ayogerera ekibiina kino Catherine Ntabadde , atubuulide nti bano bonna mu kaseera kano bali mu […]

Abantu musanvu bafiiridde mu kabenje e wakaliga.

Ali Mivule

January 12th, 2014

No comments

Abantu musanvu bafiiridde mu kabanje akagudde e Wakaliga ku ssekabaka road. Okusinziira ku aduumira poliisi y’ebidduka ku poliisi ye Lungujja Dominic okello, ekimotoka kya loole ekibadde kyetisse emmwanyi , kiremeredde omugoba waakyo ,nekiyingirira Taxi ebadde eyolekera Kampala . Abantu 5 bbo bafiriddewo, songa 2 bafiiridde […]

Bitama aziikibwa ku Mmande

Ali Mivule

January 11th, 2014

No comments

Enteekateeka ez’okuziika abadde munnakatemba omugundiivu Paddy Bitama ziwedde okusinziira ku nteekateeka zino, Bitama wakuziikibwa olunaku lwa bbalaza ku bijja bya bajjajja be e Mitala maria. Omulambo gwe olwaleero gugenda kusula Nansana mu maka ge ate ku makya gutwalibwe mu kkanisa ya pastor Bugembe gy’agenda okusabirwa […]

Oluguudo lwakuggwa kikeerezi

Ali Mivule

January 11th, 2014

No comments

OKuzimba oluguudo lwa Kampala Entebbe express highway ssi kwakuggwa mu budde. Aba kkampuni eyapatana okukola oluguudo luno eya China communications construction company abakola oluguudo luno beebategeezezza bwebati bwebabadde balambuza ssabaminista omulimu gwebakola Bano bagamba nti kwefube w’okusasula abantu abaakosebwa atambula kasoobo kale nga tebalina nnyo […]

Paddy Bitama afudde

Ali Mivule

January 11th, 2014

No comments

Kazannyirizi Paddy Bitama afudde Ono afiiridde mu ddwaliro e Mulago . Bitama abadde memba wa Amarula Family Ono nno yewunyisa bangi bweyarangirira nga bweyali yegasse ku bannabyabufuzi okusindikiriza gavumenti ya NRM mu mwaka 2011 era nga yali mu kisinde kya Ssuubi. Wabula gyebuvuddeko yategeeza nga […]

Besigye akwatiddwa

Ali Mivule

January 9th, 2014

No comments

Eyali ekulira ekibiina kya FDC Dr Kiiza Besigye akwatiddwa Ono bamukwatidde ku paaka enkadde gy’atuuse yadde nga poliisi yakedde kugumba ku maka ge okumulemesa okufuluma. Wakati mu bawagizi be, Besigye afulumye mu mmotoka era emizira negitandika. Oluvanyuma lwa poliisi okwezooba ng’ekuba omukka ogubalagala , esobodde […]

Besigye akubye poliisi ekimmooni, Lukwago akyaggalidddwa

Ali Mivule

January 9th, 2014

No comments

  Dr Kiiza Besigye akubye poliisi ekimmooni n’afuluma amaka ge yadde nga yabadde ekedde kugumba ng’eyagala okumulemesa okugenda mu kibuga. Yye loodimeeya ekyaggaliddwa mu maka ge

Abe Kayunga bacacanca

Ali Mivule

January 8th, 2014

No comments

Abantu ba Ssabasajja Kabaka e Bugerere bali mu kucacanca oluvanyuma lw’okufuna amawulire g’okukyala kw’omutanda Olunaku lwaleero, obwakabaka bwa Bugandada bukakasizza nti Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi wakuba mutaka e Kayunga nga 27 omwezi guno. Ssabasajja essaza lye lino wakulimalamu ennaku ssatu nga yetaba […]

Poliisi egaanye olukiiko lwa Lukwago olulala

Ali Mivule

January 8th, 2014

No comments

Poliisi etegeezezza nga bw’etagenda kukkiriza Lukiiko olutegekeddwa loodimeeya n’omubaka Moses Kasibante olunaku lwajjo. Bano babadde bawandikidde poliisi nga bagitegeeza nga bwebategese olukiiko ku St Matia Mulumba olunaku lw’enkya. Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti olukiiko luno terwandibadde lukyaamu naye loodimeeya okuluyingiramu kimenya amateeka Nabakooba […]