Amawulire

Babiri basiibuddwa

Ali Mivule

January 13th, 2014

No comments

Discharged

Babiri ku bantu abaagudde ku kabenje ddekabusa e Wakaliga basiibuddwa.

Bano beebamu ku omunaana abaddusiddwa mu ddwaliro nga biwala taka mu kabenje akaatuze omusanvu   n’abalala nebabuuka n’ebisago ebyamanyi.

Omwogezi w’eddwaliro  ekkulu ery’emulago  Enock Kusasira agamba abakoseddwa bagenda bakuba ku matu.

Akabenje kano kabaddemu emmotoka 2 ku luguudo oluva e Mengo okudda e Nateete wali e Wakaliga.

Okusinziira ku poliisi, omuvuzi wa kiloole ki Fuso ekyabadde kyetisse ensawo z’emmwanyi kyalemeredde omugoba wakyo nekiyingirira taxi eyabaddemu abasaabaze nga badda kampala n’egifunyafunya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *