Amawulire

Poliisi egaanye olukiiko lwa Lukwago olulala

Ali Mivule

January 8th, 2014

No comments

Kaihura again

Poliisi etegeezezza nga bw’etagenda kukkiriza Lukiiko olutegekeddwa loodimeeya n’omubaka Moses Kasibante olunaku lwajjo.

Bano babadde bawandikidde poliisi nga bagitegeeza nga bwebategese olukiiko ku St Matia Mulumba olunaku lw’enkya.

Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agamba nti olukiiko luno terwandibadde lukyaamu naye loodimeeya okuluyingiramu kimenya amateeka

Nabakooba agamba nti bukyanga lukwago agyibwa mu ofiisi takkirizibwakutegeka nkiiko kubanga ayinza okutataganya ekibuga.

Wabula yye omubaka Moses Kasibante agamba nti wakugenda mu maaso n’olukiiko luno k’abe lubaale oba katonda.

Olukiiko luno lugendereddwaamu kufuna kyakuddamu oluvanyuma lwa bakansala okuyisa ekiteeso ekigoba meeya yadde kkooti yabayimiriza