Amawulire

Kasasiro ku nguudo

Ali Mivule

January 22nd, 2014

No comments

Kasaasiro afuuse kasasiro mu divizoni ye Kawempe. Kino kivudde ku ba kontulakita abatono bebalina okukungaanya kasasiro ono. Amyuuka meeya we Kawempe, Ibrahim Mirembe agamba nti kkampuni z’obwannanyini azasaba omulimu guno zaali tezirina busobozi era nga tebasobola kuzikozesa Zino kati bazireka mu bifo ng’obutale, ebizimbe ebirala […]

Enkuba ssi ya ddala

Ali Mivule

January 22nd, 2014

No comments

Obukuba obutonyerera ennaku zino tebusaanye kubuzabuuza balimi kutandika kusiga Akulira ekibiina ekigatta abalimi n’abalunzi mu ggwanga Charles Ogwang agamba nti abantu basaanye essira okulissa ku kutegeka ennimiro zaabwe nga bwebalind enkuba entuufu etuuke. Ono agamba nti ennaku zino kizibu okumanya embeera y’obudde nga kati abalimi […]

Abayizi be Makerere batabuse

Ali Mivule

January 22nd, 2014

No comments

Abayizi be Makererere abakedde okwekumamu Ogutaaka olw’amanya gaabwe okubula  ku lukalala lw’abagenda okutikkirwa basabiddwa okwekolamu omulimu bawandike amanya gaabwe bonna Omwogezi w’ettendekero lino Ritah Namisango ategezezza ng’amanya ge balina geegabo bokka abalina ebisanyizo , era nga bebagenda okutikkirwa . Wabula agamba  nti mu kaseera kano […]

Capt. Ramathan Magara akyaluliko

Ali Mivule

January 22nd, 2014

No comments

Kooti ejulirwaamu ekakasizza ekibonerezo ky’emyaka 14 egyaweebwa capt Ramathan magara. Abalamuzi abataano nga bakulembeddwamu Opio Aweri bagambye nti ekibonerezo kino ssi kikambwe okusinziira ku bantua babiri beyatta e Bulange mengo. Bano era bakakasizza nti Magara yakuba amasasi 16 era nga n’ebisosonkole ebyasangibwa mu kifo bino […]

Egya Besigye ne Lukwago gyongezeddwaayo

Ali Mivule

January 22nd, 2014

No comments

Abavuganya gavumenti Dr Kiiza Besigye ne Erias Lukwago bassizza ku kikkowe Omulamuzi w’eddala erisooka ku kooti ya Buganda road Julius Borore akkiriza okusindika emisango gyaabwe mu kootie taputa ssemateeka y’eba esalawo eggoye Emisango egyogerwaako gyegy’okukuba enkungaana ezimenya amateeka nga zino kigambibwa okuba nga bazikuba mu […]

Ebya Besigye ne Lukwago bibi

Ali Mivule

January 21st, 2014

No comments

Kooti ya Buganda Road eganye okugyawo emisango gy’okukuba olukungana olumenya amateeka egivunanibwa eyali ssenkagale wa FDC Dr Kiiza Besigye ne loodi meeya Erias Lukwago. Omulamuzi w’edaala erisooka Julius Borore ategezezza nti yadde nga  ddala kitufu ababiri bano basibibwa mu buduukulu obw’enjawulo okusukka essaawa 48, banamateeka […]

Poliisi eyodde 40

Ali Mivule

January 21st, 2014

No comments

Poliisi ye Nansana ezinzeko abateberezebwa okubeera abazzi b’emisango 40. Bano bakwatiddwa mu kikwekweto ekyakoleddwa mu kiro ekikesezza olwaleero mu bitundu nga Kibolooka, Yesu Amala , Nabweru n’ebitundu ebirala. Akulira poliisi ye Nansana , Mohammed Kirumira agambye basobodde okuzuula ebikozesebwa mu bunyazi okuli amajambiya, obutayimbwa n’ebisumuluzo […]

Bitama aziikiddwa

Ali Mivule

January 20th, 2014

No comments

Abadde munnakatemba era kazanyirizi Paddy Bitama kyaddaaki agalamiziddwa ku biggya bya ba jajja be e Mitala Maria. Omukolo gwetabiddwaako abanene okuva mu buli nsonda okuli bannabyabufuzi ne bannakatemba . Ku mukolo guno, taata w’omugenzi Peter Njegula atangazizza ku nsonga z’amabugo n’awolereza munnakatemba Messe nti telyanga […]

Obuganda busanyukidde omulangira

Ali Mivule

January 20th, 2014

No comments

Obwakabaka bwa Buganda busanyikidde amawulire g’omulangira Edward Mbogo. Omulangira ono yazaaliddwa omulangira David Wasajja n’omuzaana Marion Nankya ku lunaku lw’omukaaga. Katikiro wa Buganda Charles Peter Mayiga, akyaddeko mu ddwaliro gyebali n’ategeezezza nti mu butuufu Obuganda buladde Owek.Mayiga agambye nti kati balinda ssabasajja Kabaka wa Buganda […]

Teri kusengula masomero

Ali Mivule

January 20th, 2014

No comments

Kooti enkulu mu kampala ayisizza ebiragiro ebiyimiriza KCCA okusengula  amasomero agali mu musingi gw’eddini yy’ekikiristu mu kampala Abakulembeze ba Kkanisa ng’eyita mu Jonathan Lubega baddukira mu kooti nga bawakanya ekya KCCA okusengula amsomero gaabwe nga tebabeebuzizaako Nga 18 omwezi oguwedde, abakulembeze b’amasomero agatali gamu okuli […]