Amawulire

Ebya Besigye ne Lukwago bibi

Ali Mivule

January 21st, 2014

No comments

Besigye lukwago

Kooti ya Buganda Road eganye okugyawo emisango gy’okukuba olukungana olumenya amateeka egivunanibwa eyali ssenkagale wa FDC Dr Kiiza Besigye ne loodi meeya Erias Lukwago.

Omulamuzi w’edaala erisooka Julius Borore ategezezza nti yadde nga  ddala kitufu ababiri bano basibibwa mu buduukulu obw’enjawulo okusukka essaawa 48, banamateeka babwe balemeddwa okumumatiza nti ddala emisango gino temuli nsa.

Bano bakwewozako olunaku olwnkya ku misango gino ekigambibwa nti bajizza omwaka oguwedde mu bitundu bya Kampala ebyenjawulo.

Ye loodi meeya awakanyizza ebyasaliddwawo kooti nga kati bajuliridde kujulira mu kooti etaputa ssemateka.