Amawulire

Bitama aziikiddwa

Ali Mivule

January 20th, 2014

No comments

Bitama casket

Abadde munnakatemba era kazanyirizi Paddy Bitama kyaddaaki agalamiziddwa ku biggya bya ba jajja be e Mitala Maria.

Omukolo gwetabiddwaako abanene okuva mu buli nsonda okuli bannabyabufuzi ne bannakatemba .

Ku mukolo guno, taata w’omugenzi Peter Njegula atangazizza ku nsonga z’amabugo n’awolereza munnakatemba Messe nti telyanga ku mabugo nga bwebyafulumira mu mpappula z’amawulire nga ssente zonna bazibawadde.

Yebazizza abantu okulaga Bitama omukwano ne mu kufa.

Ate yye Dr Kiiza Besigye omugenzi amugerageranyizza ku Yesu christu gw’agambye nti abadde mu ntu wa bantu ate nga teyerabira nsi ye era nga yoomu ku batadde ejjinja ku demokulasiya mu Ggwanga

Mu balala abeetabye mu kuziika kubadde loodimeeya Erias Lukwago, abayimbi okuli Bobi wine ne bannakatemba omuli aba Afri Talent

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *