Amawulire

Egya Besigye ne Lukwago gyongezeddwaayo

Ali Mivule

January 22nd, 2014

No comments

Besigye

Abavuganya gavumenti Dr Kiiza Besigye ne Erias Lukwago bassizza ku kikkowe

Omulamuzi w’eddala erisooka ku kooti ya Buganda road Julius Borore akkiriza okusindika emisango gyaabwe mu kootie taputa ssemateeka y’eba esalawo eggoye

Emisango egyogerwaako gyegy’okukuba enkungaana ezimenya amateeka nga zino kigambibwa okuba nga bazikuba mu mwaka oguwedde.

Omulamuzi okusalawo bw’ati kiddiridde bannamateeka ba Besigye ne Lukwago okuwakanya eky’abantu baabwe okuvunaanibwa emisnago gino ng’ate bakwatibwa mu bukyamu ne basibwa okuyita mu ssaawa 48 ezoogerwaako ssemateeka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *