Amawulire

Ebya Bad Black bizibu

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

Ebya Bad Black byo kirabika byafuuka namulanda Kati ate waliwo abamukubye mu mbuga z’amateeka nga bamubanja obukadde 105 Abamubanja bawozi ba ensimbi nga bayise mu Ismail l Mpanga Bumba nga bagamba nti nga  11th omwezi gw’ekkumi mu mwaka 2011 bawoola Black ensimbi zino ezaali ez’okussa […]

KCCA etabukidde aba mabaala

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

KCCA eyongedde okutabukira bannanyini ma baala agakuba omuziki ogubuzaako abalala otulo mu kiro Ku luno batuukidde ku nnanyini baala ya Cayene esangibwa e Bukoto ng’ono aguddwaako emisango gy’okubuzaako abalala emirembe. Mario Bruneti ng’ono mumerika era nga ye bba w’omuyimbi Cindy asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Juliet […]

Temukola ffujjo- Buganda

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

Obwakabaka bwa Buganda busabye abantu bonna abagenda e Bugerere okwewala ebikolwa eby’efujjo wamu n’ebigambo ebisiga obukyaayi. Minista wa Buganda ow’amawulire Denis Walusimbi Ssengendo agambye nti  okukyala kwa Kakaba mu Ssaza lye Bugerere, kugendereddwamu okutabaganya abantu abenjawulo sso ssi kusiga bukyaayi. Walusimbi era asabye abagoba ba […]

Entalo mu Bodaboda zisajjuse

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

Entalo mu bagoba ba boda boda mu Kampala zirabika zisajjuse Abamu ku bano abeegattira mu kibiina ekya National Federation of professional cyclist network mu Kampala  basabazze ebyogerwa nti beegasse ku kibiina ekirala ekimanyiddwa nga Boda boda 2010. Bano bagamba nti tebasobola kwegatta ku bantu abamaze […]

Kooti eragidde akakibwe omukwano

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

Poliisi mu ggwanga lya Buyindi ekutte abasajja 13 abagambibwa okusobya ku muwala ekirindi nga bagoberera ekiragiro ky’abakulembeze mu kitundu. Abakulembeze bano abaatudde mu kafubo beebasazeewo nti muwala ono akakakibwe omukwano ng’ogumuvunaanibwa gwakubaako na luvubuka lw’ayagala Omuwala ayogerwaako wa myaka 20 era ng’ali ku kitanda mu […]

Buganda efulumizza enteekateeka z’okukyala kwa ssabasajja

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

Obwakabaka bwa Buganda bufulumizza enteekateeka z’okukyala kwa Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri ez’okukyala mu ssaza lye erye Bugerere. Omwogezi wa Buganda owek. Denis Walusimbi agambye nti buli kimu kiwedde ng’omutanda agenda kubeera mutaka e Kayunga nga 27 ng’eno egenda kusisinkana abakulembeze abatali […]

Teri kwongera maggye ssente

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

Emirimu mu kakiiko akakola ku by’okwerinda gyesibye okumala kumpu ssaawa bbiri namba oluvanyuma lw’abakulu mu gavumenti  okusaba nti bannamawulire bagobwe mu kakiiko. Abakulu bano okubadde amyuka ssabawolereza, Fred Ruhindi n’oweby’okwerinda Jeje Odong bategeezezza ng’ebimu ku byebamanyii bwebabadde batasobola kubitegeeza babaka nga bannamawulire bawulira Kino kiwakanyiziddwa […]

Ebya UNEB byandibaamu akavuyo

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

Ssentebe wa UNEB , Fagil Mande kyaddaaki ayogedde ku bizibu ebiri mu kitongole ky’akulembera. Agamba nti ekireese obuzibu kifo kya ssabawandiisi, Mathew Bukenya eyalekulira nga buli omu akyagaala. Omuntu akola omulimu guno asasulwa obukadde 17. Mande era ayagala wabeewo n’okunonyereza ku alipoota eyakolebwa ng’esonga ku […]

Akabenje kasse babiri

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

Abantu babiri beebafiiridde mu kabenje akagudde e Kiwnagula ku luguudo oluva e Busaana okudda e Kayunga Ku bafudde kwekubadde n’omusajja wa myaka 70 abadde avuga akagaali ng’ategerekese nga Benon Bawaali. Emmotoka kika kya Mark two eremeredde omugoba waayo n’ekoona omukadde ono nga tennaba kwevulungulula mirundi […]

Acanze omwana

Ali Mivule

January 22nd, 2014

No comments

Abadde katemba ku ddwaliro e Mulago abasajja babiri bebalwanidde omulambo gw’omwana abadde yakazaalibwa. Kiddiridde maama w’omwana ono ategerekese nga Masitula Mbabazi okulimba abasajja bombi olubuto. Mbabazi nga yakamala okuzaala yayise bba okukima omulambo kubanga omwana yabadde afudde kyokka nga yabadde yakatuuka n’omusajja omulala n’atuuka. Omusajja […]