Amawulire

KCCA etabukidde aba mabaala

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

cindy byfie

KCCA eyongedde okutabukira bannanyini ma baala agakuba omuziki ogubuzaako abalala otulo mu kiro

Ku luno batuukidde ku nnanyini baala ya Cayene esangibwa e Bukoto ng’ono aguddwaako emisango gy’okubuzaako abalala emirembe.

Mario Bruneti ng’ono mumerika era nga ye bba w’omuyimbi Cindy asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi Juliet Hatanga n’ayimbulwa ku kakalu ka kooti ya bukadde bubiri n’ekitundu

Abamweyimiridde kwekubadde muganzi we Cindy Emisango gino kigambibwa okuba nga yagizza nga 19 omwezi gw’ekkumi mu mwaka oguwedde