Amawulire

Buganda efulumizza enteekateeka z’okukyala kwa ssabasajja

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

Kabaka atudde Ntende

Obwakabaka bwa Buganda bufulumizza enteekateeka z’okukyala kwa Ssabasajja Kabaka wa Buganda Ronald Muwenda Mutebi ow’okubiri ez’okukyala mu ssaza lye erye Bugerere.

Omwogezi wa Buganda owek. Denis Walusimbi agambye nti buli kimu kiwedde ng’omutanda agenda kubeera mutaka e Kayunga nga 27 ng’eno egenda kusisinkana abakulembeze abatali bamu, aggulewo omwoleso kkoo n’okutema evuniike ly’okuzimba kkanisa ya ba sevenisi day

Ono agambye bannabugerere bonna okwaniriza omutanda mu kitiibwa kyokka n’abasaba okukolagana n’ab’obuyinza okulaba nti tewabaawo kavuyo konna

Yyo poliisi ekakasizza nti ebyokwerinda bya Kabaka byakuba gguluggulu ng’abali mu yunifoomu ne leeya bakuyiibwa okulaba nti tewaba buzibu bwonna.

KAulira ebikwekweto mu ggwanga, Grace Turyagumanawe naye asabye abantu okukolagana nabo okulaba nti buli kimu kiba mulaala

Okuddako e Kayunga,ssentebe eng Steven Dagada asabye abazimba ebiyitirirwa nga balinda ssabasajja okukwatagana obulungi n’abagoba b’ebidduka entambula ereme kusanyalala .

Kino kiddiridde abamu ku bazimba ebiyitirirwa bino okugaana aba taxi n’abagoba b’ebidduka ebirala okugaana abamu ku bavuzi b’ebidduka bino okubiyitamu nti ssabasajja yekka yalina okubiyitamu.