Amawulire

Temukola ffujjo- Buganda

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

Katikkiro arrives in Kayunga

Obwakabaka bwa Buganda busabye abantu bonna abagenda e Bugerere okwewala ebikolwa eby’efujjo wamu n’ebigambo ebisiga obukyaayi.

Minista wa Buganda ow’amawulire Denis Walusimbi Ssengendo agambye nti  okukyala kwa Kakaba mu Ssaza lye Bugerere, kugendereddwamu okutabaganya abantu abenjawulo sso ssi kusiga bukyaayi.

Walusimbi era asabye abagoba ba Boda boda okwewala okuvugisa ekimama mukwaniriza Ssabasajja wamu n’abantu babulijjo okwewala okweyiwa mu nguudo okulemesa emmotoka okutambula