Amawulire

Tetujja kusindikiriza bava South Sudan-Gavumenti

Ali Mivule

January 25th, 2014

No comments

Gavumenti etegeezezza nga bw’etagenda kusindikiriza basudan abadduse olutalo mu ggwanga lyaabwe Kamisona akola ku nsonga zababundabunda mu minisitule ekol ku bigw abitalaze, David KAzungu agamba nti abantu bano balina eddembe okusigala gyebaddukidde. Omuwendo gwa bantu abadduka mu South Sudan gutuuse ku bantu emitwaalo 5 nga […]

Okusobya ku baana e Kamuli Kungi

Ali Mivule

January 25th, 2014

No comments

  Omuwendo gw’abaana abasobezebwako mu district ye Kamuli gweyongedde okulinya. Omwaka oguwedde abaana 460 bebasobezebwako ate emisago 153 egyekuusa kubutabanguko mu maka gyegyalopebwa ku polisi. Akulira ekitongole kya polisi ekikola kunsonga z’abaana mu district ye Kamuli Richard Kagoda agambye nti ebikolwa bino biziza nyo abaana […]

Eddwaliro lyeryatta omwana wange-bazadde

Ali Mivule

January 24th, 2014

No comments

Eddwaliro lya Case Medical erisangibwa ku luguudo lwa Buganda Road liri mu kattu lwa mwana afa. Bazadde b’omwana ono Anthony Mutyaba ne Justibe Nassimbwa bakubye eddwaliro lino mu mbuga z’amateeka nga bagaala kuliyirirwa olw’omwana waabwe eyafa mu ngeri gyebayita ey’obulagajjavu Omukyala ono agamba nti yalina […]

Besigye nate akwatiddwa

Besigye nate akwatiddwa

Ali Mivule

January 24th, 2014

No comments

Eyali ssekangale w’ekibiina kya  FDC Dr. Kiiza Besigyea azzeemu okukwatibwa poliisi bw’abadde agezaako okuva mu makaage e kasangati. Tekinatagerekeka wa Besigye gyatwaliddwa era lwaki akwatiddwa. Ebisingawo  tugenda kubibatusako .

poliisi Etabudde Okuziika

Ali Mivule

January 24th, 2014

No comments

  E mubende abakungubazi ababadde bagenda okuziika abafu 2 okuva mu nyumba emu babunye emiwabo oluvanyuma lwa poliisi ekkakanya obujagalalo okuyiibwa mu kitundu ekyo. Bino bibadde ku kyalo Momo era emirambo bagisudde eri nebeyokya ensiko nga ekyalo kusigaddeko baana bato. Akulira ebikwekweto e Mubende Afande […]

Gavumenti Museveni wakuyamba Abavubuka

Ali Mivule

January 24th, 2014

No comments

  omukulembeze w’eggwanga Yoweri Museveni  atongozza enkola enayamba abavubuka okwejja mu bwavu. Munkola eno gavumenti yakweyimirira nga abavubuka okwewola ebintu ebivamu jamba nga emmotoka, ebikozesebwa mu kulima n’ebirala bekulakulanye. Museveni  ategezezza nti kino kijja kuyamba abavubuka okuva mu kukuba emisota ku byalo bekolere bejje mu […]

Akatale ke Wandegeya kagulwawo olwaleero

Ali Mivule

January 24th, 2014

No comments

  Akatale ke Wandegeya kagulwawo olwaleero mu butongole era abasuubuzi bakutandika okukakalabya egyabwe. Bano bamaze kukiriziganya ku ndagaano y’obupangisa n’ekitongole kya KCCA gyebali basimbidde ekkuuli nga bagamba nti ebyalimu byali  bibanyigiriza. Bano era babadde bemulugunya nti akatale  kabadde tekanaggwa nga emidaala egisinga gibadde gikyazimbibwa. Wabula […]

Mukuume Bulungi abaana nga Mwaniriza Omutanda

Ali Mivule

January 24th, 2014

No comments

  Nga essaza ly’ebugerere liwuuma olw’okukyala kwa Ssabasajja Ronald Muwenda Mutebi II,abazadde mu ssaza lino poliisi ebalabudde  okuteka eriiso ejoji ku baana babwe baleme kubula mu kwaniriza omutanda.   Omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Judith Nabakooba agamba nti mu bikujuko nga bino poliisi efuna  emisango […]

Poliisi eyiriddwa e Nakigalala

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

Poliisi eyongedde okuyiibwa ku ttaka erikayaanirwa e Nakigalala Ssabbiiti eno abantu abasoba mu 70 beebalumba ettaka erigambibwa okuba nga lya mugagga Madhvani nebakuba abaliriko olwo nebalyezza Wabula akulira poliisi ye Kajjansi Edson Muganzi agamba nti tebagenda kwamuuka ttaka lino okutuusa ng’enkayaana zino ziwedde

Palamenti ekunyizza Musisi

Ali Mivule

January 23rd, 2014

No comments

AKulira abakozi mu kampala, Jennifer Musisi awakanyizza ebigambibwa nti abakozi mu kitongole ky’akulira babayisa manju okutuuka mu mirimu gyebalimu. Ono abadde mu kakiiko ka palamenti akabalirira ensimbi z’omuwi w’omusolo akali mu kunonyereza ku mivuyo mu KCCA. Ababaka abatuula ku kakiiko kano bagamba nti okuyingiza abantu […]