Amawulire

Bitama aziikibwa ku Mmande

Ali Mivule

January 11th, 2014

No comments

Paddy real dead

Enteekateeka ez’okuziika abadde munnakatemba omugundiivu Paddy Bitama ziwedde

okusinziira ku nteekateeka zino, Bitama wakuziikibwa olunaku lwa bbalaza ku bijja bya bajjajja be e Mitala maria.

Omulambo gwe olwaleero gugenda kusula Nansana mu maka ge ate ku makya gutwalibwe mu kkanisa ya pastor Bugembe gy’agenda okusabirwa n’oluvanyuma gutwalibwe ku National theater mu kampala.

Eno gwakutuukayo ku ssaawa 11 ez’olweggulo

Bitama afudde ku ssaawa munaana ez’emisana oluvanyuma lw’okufuna obulwadde bwa kokoolo obubadde bumutawaanya

Okufa kwa Bitama kukakasiddwa munne bwebazannya katemba Nicholas Mpiirwe amanyiddwa ennyo nga mmese.

Yye meeya we Nansana gy’abadde asula, Wakayima Musoke agamba nti eggwnaga lifiiriddwa omuntu omukulu aliko ky’akoledde abantu

Ono nno abadde amanyikiddwa nnyo nga munnakatemba kyokka nga yatiisa bangi bweyalangirira nga bweyali yegasse ku kisinde kya Suubi okusindikiriza gavumenti ya NRM.

yetaba mu nkungaana nyingi omwali ne kawefube w’okutambuza ebigere ng’abantu bagenda ku mirimu era yakwatibw a enfunda

Wabula mu mwezi gw’ekkumi mu mwaka oguwedde yalangirira nga bweyali akooye embooko era ng’azeeyo mu kibinja kya Amarula Family.

Oyo nno ye Paddy Bitama afudde emisana ga leero

Omwoyo gw’omugenzi omukama agulamuzise kisa

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *