Amawulire

Abatuuze beekalakaasizza lwa nfuufu

Ali Mivule

January 7th, 2014

No comments

Abatuuze be Kibuli  bavudde mu mbeera nebekalakaasa olw’enfuufu esukkiridde . Kanaluzaala lw’eluguudo lwa kakungulu olwawalakatibwa kati emyezi 6 nga terunaggwa nga abaliranyewo okusingira ddala abalukolera okumpi  enfuufu balye ndye. Bano era banenya ekitongole kya KCCA okukola omulimu guno mu kasoobo. Aba kampuni ya Omega nga […]

Omuliro gukutte amaduuka

Ali Mivule

January 6th, 2014

No comments

Ebintu ebibalirwaamu obukadde n’obukadde byebitokomokedde mu nabbambula w’omuliro akutte amayumba e Namasuba ku stella. Tekinnategerekeka oba omuliro guno guvudde ku ki kyokka nga gutandikidde mu bbaala okweyongerayo mu maduuka amalala. Akulira poliisi enziinya mooto, Joseph Mugisa agamba nti bayitiddwa lubaluba era nga basobodde okutuuka okuzikiza […]

Ababaka balabudde ssabanyala

Ali Mivule

January 6th, 2014

No comments

Ababaka ba palamenti okuva mu Buganda balabudde eyeeyita Ssabanyala Baker Kimeze okwewala okwogerera Obuganda amafukuule Kiddiridde ebyasooka okufuluma nga biraga nga Baker Kimeze bweyali asaba Mengo ewandiika mu butongole ng’esaba nti Ssabassajja akyaleko mu ssaza lye Bugerere. Amyuka akulira akabondo k’ababaka ba Buganda mu palamenti, […]

Poliisi etubidde n’emirambo

Ali Mivule

January 6th, 2014

No comments

Poliisi mu kampala ekyatubidde n’emirambo gy’abantu ababiri abaafiridde mu kabenje abagudde e Kyambogo olunaku lwajjo. Ababiri bano baafiriddewo mbulaga mu kabenje akeetabiddwaamu mmotoka kika kya Toyota Nadia  ne baasi. Omwogezi wa poliisi mu kampala n’emiriraano, Ibin Ssenkumbi agamba nti byebakafunawo biraga nti akabenje kano bavudde […]

Lukwago ne Poliisi bawanyisiganyizza ebisongovu

Ali Mivule

January 6th, 2014

No comments

Wabaddewo okusika omuguwa mu bitundu bye Lungujja, poliisi bw’esazeeko loodimeeya abadde yakafuluma ewuwe. Meeya ng’ali wamu n’ababaka ba palamenti okuva mu kampala n’emiriraani abadde agenda mengo kwetaba mu Lukiiko olutudde e Mengo ku ofiisi z’ekibiina kya Jeema. Kino kibaddewo nga Lukwago yakalangirira nga bw’asazizzaamu olukiiko […]

Omuliro gusse basatu

Ali Mivule

January 6th, 2014

No comments

Abantu  basatu bafiiridde mu muliro ogukutte enyumba mwebabadde  ku kyalo kikaawula mu lugazi town council. Ssentebe w’ekyalo kino Thomas Mugambe atubuulide nti omuliro guno gutandise ku ssaawa nga musanvu nga abantu bano beebase. Poliisi ekyagenda mu maaso n’okunonyereza ku kituufu ekivuddeko omuliro guno.

Ssejusa-Anamuddira mu bigere anaalondebwa

Ali Mivule

January 6th, 2014

No comments

Amagye gatandise kawefube  w’okujjuza ekifo kya  Gen David Sejusa  mu palamenti. Ono yagobwaayo omwaka oguwedde oluvanyuma lw’okulemererwa okubaawo mu ntuula 15. Omwogezi w’amagye ga UPDF  Lt Col. Paddy Ankunda agamba amannya g’abagenda okuddira sejusa mu bigere gawereddwaayo dda eri aduumira amaggye yadde nga tayogedde mannya […]

Lukwago ne poliisi bawera

Ali Mivule

January 6th, 2014

No comments

Poliisi eweze okulinya eggere mu lukungaana  Loodi Meeya Erias Lukwago lw’ategese okukuba wali ku ekereziya ya St Matia Mulumba . Luno lugendereddwamu okusala amagezi ku butakkanya bw’alina n’oludda lw’ebyekikugu  mu KCCA saako n’enzirukanya y’ekibuga kyonna okutwaliza awamu. Lukwago agamba poliisi yamukkirizza okukuba olukungana luno nga […]

Bannayuganda e South Sudan bali ku mpiso

Ali Mivule

January 3rd, 2014

No comments

Bannayuganda abakyatubidde mu ggwanga lya South Sudan bandituusibwaako obulabe. Abakulembeze okuva mu bitundu ebiriraanye eggwanga lino bagamba nti ekya Uganda okweyingiza mu nsonga ze Sudan n’ebigambo ebyogerwa pulezidenti byolese okussa bannayuganda mu matigga Wetwogererera nga bannayuganda abasoba mu mitwalo 2 beebakyaali mu South sudan nga […]

Poliisi ewandiika bapya

Ali Mivule

January 3rd, 2014

No comments

Poliisi esabye abakulembeze abasookerwako ku byalo okugiyambako mu kuwandiika abantu abaagala okugyegattako. Poliisi ku lunaku lwabbalaza yalangirira nga bw’eri mu kuwandiisa abagaala kugyegattako nga bagaala abantu abasoba mu 3000 era nga kino kyakuggwa ng’ennaku z’omwezi 13 omwezi guno. Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agambye nti […]