Amawulire

Lukwago ne Poliisi bawanyisiganyizza ebisongovu

Ali Mivule

January 6th, 2014

No comments

Lukwago

Wabaddewo okusika omuguwa mu bitundu bye Lungujja, poliisi bw’esazeeko loodimeeya abadde yakafuluma ewuwe.

Meeya ng’ali wamu n’ababaka ba palamenti okuva mu kampala n’emiriraani abadde agenda mengo kwetaba mu Lukiiko olutudde e Mengo ku ofiisi z’ekibiina kya Jeema.

Kino kibaddewo nga Lukwago yakalangirira nga bw’asazizzaamu olukiiko lw’abadde ategekese ku atia Mulumba ku nsonga z’okumufumuula.

Ono oluvanyuma bamukkirizza okugenda mu Lukiiko luno kyokka ng’obwedda bino webiri ng’abawagizi be bbo bayimba buyimba bumusuuta