Amawulire

Ababaka balabudde ssabanyala

Ali Mivule

January 6th, 2014

No comments

Nambooze tough

Ababaka ba palamenti okuva mu Buganda balabudde eyeeyita Ssabanyala Baker Kimeze okwewala okwogerera Obuganda amafukuule

Kiddiridde ebyasooka okufuluma nga biraga nga Baker Kimeze bweyali asaba Mengo ewandiika mu butongole ng’esaba nti Ssabassajja akyaleko mu ssaza lye Bugerere.

Amyuka akulira akabondo k’ababaka ba Buganda mu palamenti, Betty Nambooze Bakireke agamba nti Kimeze tayinza kwogera ku nsonga nkulu nga kukyala lwa Kabaka nga ssi mukulembeze wa nnono.

Ono era agamba nti ababaka abasoba mu 50 beebagenda okwetaba ku kukyala kw’omutanda e Kayunga era nga tewali ajja kulemesa

Ono agamba nti bamaze dda Ssabasajja asiime akyaleko ne mu ssaza lye erye Buruuli ng’avudde e Bugerere.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *