Amawulire

Lukwago ne poliisi bawera

Ali Mivule

January 6th, 2014

No comments

Lukwago welcomed

Poliisi eweze okulinya eggere mu lukungaana  Loodi Meeya Erias Lukwago lw’ategese okukuba wali ku ekereziya ya St Matia Mulumba .

Luno lugendereddwamu okusala amagezi ku butakkanya bw’alina n’oludda lw’ebyekikugu  mu KCCA saako n’enzirukanya y’ekibuga kyonna okutwaliza awamu.

Lukwago agamba poliisi yamukkirizza okukuba olukungana luno nga era wano wenyini webagenda okufulumya olunaku lwanadda mu ofiisi oluvanyuma lwa kkooti enkulu okuyimiriza eky’okumugoba mu ofiisi ekyali kikoleddwa bakansala.

Wabula ye amyuka omwogezi wa poliisi mu ggwanga  Patrick Onyango ategezezza nga bwebatanakkiriza Lukwago kukuba lukungaana lwonna oluvanyuma lw’okwebuza ku ssabawolereza wa gavumenti n’abategeza nga Lukwago bw’atakyali mukulembeze wa kibuga.

Omwaka oguwedde Lukwago yagobwa olukiiko lwabakansala oluvanyuma lw’akakaiiko ka KCCA akateekebwawo okumusingisa emisango gy’obutakola bulungi mirimu gye.