Amawulire

Poliisi ewandiika bapya

Ali Mivule

January 3rd, 2014

No comments

Nabakooba again

Poliisi esabye abakulembeze abasookerwako ku byalo okugiyambako mu kuwandiika abantu abaagala okugyegattako.

Poliisi ku lunaku lwabbalaza yalangirira nga bw’eri mu kuwandiisa abagaala kugyegattako nga bagaala abantu abasoba mu 3000 era nga kino kyakuggwa ng’ennaku z’omwezi 13 omwezi guno.

Omwogezi wa poliisi Judith Nabakooba agambye nti abakulembeze b’okubyalo balina okubayambako mu kulondobamu abatuufu abanakuuma emirembe mu ggwanga

Nabakooba akikkatirizza  nti mu kadde kano obuzzi bw’emisnago bususse kyokka nga busobola okulwanyisibwa ssinga abantu babayambako okuviira ddala mu kuwandiisa abakwasisa amateeka abatuufu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *